Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Isaaya 11:1-16

EBIRIMU

  • Obufuzi bw’ekikolo kya Yese obw’obutuukirivu (1-10)

    • Omusege n’omwana gw’endiga bibeera wamu (6)

    • Okumanya Yakuwa kulijjula ensi (9)

  • Ensigalira bakomawo (11-16)

11  Ettabi+ lirimera ku kikolo kya Yese,+N’ensibuka+ eriva mu mirandira gye eribala ebibala.   Era omwoyo gwa Yakuwa gulimubeerako,+Omwoyo gw’amagezi+ era ogw’okutegeera,Omwoyo gw’okubuulirira era ogw’amaanyi,+Omwoyo gw’okumanya era ogw’okutya Yakuwa.   Alifuna essanyu mu kutya Yakuwa.+ Talisala musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba,So talinenya ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira.+   Aliramula abanaku mu bwenkanya,*Era alinenya abantu abalala mu bugolokofu ku lw’abawombeefu ab’omu nsi. Alikuba ensi n’omuggo gw’akamwa ke+Era ababi alibattisa omukka oguva mu kamwa ke.*+   Obutuukirivu bwe buliba omusipi gwe yeesiba mu kiwato,N’obwesigwa bwe buliba omusipi ogw’omu kiwato kye.+   Omusege gulibeera* wamu n’omwana gw’endiga,+N’engo erigalamira n’omwana gw’embuzi,Ennyana n’empologoma n’ensolo eya ssava biribeera wamu;*+Era omwana omuto alizirunda.   Ente n’eddubu biririira wamu,Era abaana baazo baligalamira wamu. Empologoma erirya omuddo ng’ente.+   Omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,N’omwana eyaakava ku mabeere aliteeka omukono gwe ku kinnya ky’omusota ogw’obusagwa.   Tebiriba bya bulabe+Wadde okukola akabi konna ku lusozi lwange lwonna olutukuvu,+Kubanga ensi erijjula okumanya YakuwaNg’amazzi bwe gajjula ennyanja.+ 10  Ku lunaku olwo ekikolo kya Yese+ kiriyimirira ne kiba ng’akabonero* eri amawanga.+ Amawanga galijja gy’ali okufuna obulagirizi,*+N’ekifo kye eky’okuwummuliramu kiriba kya kitiibwa. 11  Ku lunaku olwo Yakuwa aligolola omukono gwe omulundi ogw’okubiri, okukomyawo abantu be abaliba basigaddewo n’abaggya mu Bwasuli,+ mu Misiri,+ mu Pasuloosi,+ mu Kkuusi,+ mu Eramu,+ mu Sinaali,* mu Kamasi, ne ku bizinga ebiri mu nnyanja.+ 12  Aliwanikira amawanga akabonero* n’akuŋŋaanya abantu ba Isirayiri abaasaasaana,+ era alikuŋŋaanya wamu abantu ba Yuda abaasaasaana n’abaggya mu nsonda ennya ez’ensi.+ 13  Obuggya bwa Efulayimu buliba buweddewo,+Abo abalaga Yuda obukyayi balimalibwawo. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya,Ne Yuda talikola Efulayimu bintu ebyoleka obukyayi.+ 14  Balikka mbiro ku buserengeto* bw’Abafirisuuti obuli ebugwanjuba;Nga bali wamu balinyaga abantu b’Ebuvanjuba. Baliwamba Edomu+ ne Mowaabu,+Era balifuga Abaamoni.+ 15  Yakuwa alyawulamu* ekikono* ky’ennyanja y’e Misiri+Era aliwuuba omukono gwe ku Mugga.*+ Alikozesa omukka* gwe ogwokya okukuba emyala gyagwo omusanvu,Era alisomosa abantu nga bali mu ngatto. 16  Walibaawo oluguudo olunene+ oluva e Bwasuli abantu be abalisigalawo mwe baliyita,+Nga bwe waaliwo olwo Isirayiri mwe yayita ku lunaku lwe yava mu nsi ya Misiri.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu butuukirivu.”
Obut., “omwoyo gw’emimwa gye.”
Oba, “gulibeerako.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ennyana n’empologoma biririira wamu.”
Oba, “ng’ekikondo.”
Oba, “Amawanga galimunoonya.”
Kwe kugamba, Babulooni.
Oba, “ekikondo.”
Obut., “kibegaabega.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “alikaliza.”
Obut., “olulimi.”
Omugga Fulaati.
Oba, “omwoyo.”