Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ezeekyeri 5:1-17

EBIRIMU

  • Okugwa kwa Yerusaalemi kulagibwa (1-17)

    • Enviiri nnabbi z’amwedde zigabanyizibwamu ebitundu bisatu (1-4)

    • Yerusaalemi kibi okusinga amawanga (7-9)

    • Abajeemu ba kufuna ebibonerezo bya mirundi esatu (12)

5  “Naye ggwe omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi okikozese ng’akamweso k’omusazi w’enviiri, omwe omutwe gwo n’ekirevu kyo, oluvannyuma oddire minzaani opime enviiri ezo, era ozigabanyeemu ebitundu bisatu.  Ekitundu ekimu eky’okusatu ojja kukyokera munda mu kibuga ng’ennaku ez’okukizingiza ziweddeko.+ Ekitundu ekimu eky’okusatu ekirala ojja kukisalirasalira ku njuyi zonna ez’ekibuga,+ng’okozesa ekitala, ate ekitundu ekimu eky’okusatu ekinaaba kisigaddewo okisaasaanye kitwalibwe empewo, era nja kusowolayo ekitala kiziwondere.+  “Era toolako enviiri ntonotono ozisibe mu kikondoolo ky’ekyambalo kyo.  Era toolako endala ozisuule mu muliro, ozookye. Omuliro gujja kuva okwo gusaasaane eri ennyumba ya Isirayiri yonna.+  “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Kino kye kibuga Yerusaalemi. Nkitadde wakati mu mawanga, era ensi zikyetoolodde.  Naye kijeemedde ebiragiro byange n’amateeka gange, era kikoze ebintu ebibi n’okusinga amawanga n’ensi zonna ezikyetoolodde.+ Abantu baamu beesambye ebiragiro byange, era tebatambulidde mu mateeka gange.’  “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba mwali bantu bazibu okusinga amawanga agabeetoolodde, ate nga temwatambulira mu mateeka gange n’ebiragiro byange, wabula ne mugoberera ebiragiro by’amawanga gonna agabeetoolodde,+  bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba, nfuuse mulabe wo, ggwe ekibuga,+ era nja kutuukiriza emisango wakati mu ggwe gye nnabasalira. Nja kukikola ng’amawanga galaba.+  Nja kukola mu ggwe ekintu kye sikolangako era kye siriddamu kukola, olw’ebikolwa byo byonna eby’omuzizo.+ 10  “‘“Bataata bajja kulya abaana baabwe,+ n’abaana bajja kulya bakitaabwe. Nja kubabonereza, era abo abanaasigalawo mbasaasaanye mu njuyi zonna.”’*+ 11  “‘Kale, nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘olw’okuba ekifo kyange ekitukuvu mwakifuula ekitali kirongoofu nga mukissaamu ebifaananyi ebyenyinyaza era nga mukikoleramu ebintu eby’omuzizo,+ nja kubeesamba; eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa, era sijja kubasaasira.+ 12  Ekimu eky’okusatu ku bantu abali mu kibuga bajja kufa endwadde oba enjala. Ekimu eky’okusatu ekirala bajja kuttibwa n’ekitala ebweru w’ekibuga.+ N’ekimu eky’okusatu ekinaasigalawo nja kukisaasaanya mu njuyi zonna,* era nja kusowolayo ekitala kibawondere.+ 13  Awo obusungu bwange bujja kukoma, n’ekiruyi kyange kijja kukkakkana, era nja kuba mumativu.+ Bwe nnaamala okubamalirako ekiruyi kyange, bajja kumanya nti nze Yakuwa ayogedde nabo, njagala abantu okunneemalirako.+ 14  “‘Nja kukufuula matongo era ekivume mu mawanga agakwetoolodde ne mu maaso ga buli ayitawo.+ 15  Bwe nnaakusalira omusango nga ndiko obusungu n’ekiruyi, era ne nkubonereza nnyo, ojja kufuuka ekivume era ekintu ekinyoomebwa,+ era ojja kuba kyakulabirako era ekintu eky’entiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze Yakuwa nze nkyogedde. 16  “‘Nja kubasindikira enjala eneebatta ng’obusaale. Obusaale bwe nnaabasindikira bujja kubazikiriza.+ Nja kusaanyaawo amaterekero gammwe ag’emmere* enjala yeeyongerere ddala okubatta.+ 17  Nja kubasindikira enjala n’ensolo enkambwe,+ era bijja kutta abaana bammwe. Endwadde n’ettemu bijja kubayitirirako, era nja kubaleetako ekitala.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.’”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “eri buli mpewo.”
Obut., “eri buli mpewo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 4:16.