Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ezeekyeri 37:1-28

EBIRIMU

  • Okwolesebwa okukwata ku kiwonvu eky’amagumba amakalu (1-14)

  • Emiggo ebiri gya kugattibwa wamu (15-28)

    • Eggwanga limu nga lifugibwa kabaka omu (22)

    • Endagaano y’emirembe ey’olubeerera (26)

37  Omukono gwa Yakuwa gwandiko, era Yakuwa yakozesa omwoyo gwe n’antwala n’anteeka wakati mu lusenyi+ olwali lujjudde amagumba.  Yantambuza ng’anneetoolooza amagumba, ne ndaba nga mangi nnyo mu lusenyi era nga makalu nnyo.+  N’ambuuza nti: “Omwana w’omuntu, amagumba gano gasobola okuddamu okuba amalamu?” Ne mmuddamu nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ggwe omanyi.”+  N’aŋŋamba nti: “Langirira ebikwata ku magumba gano, era ogagambe nti, ‘Mmwe amagumba amakalu, muwulire Yakuwa ky’agamba:  “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba amagumba gano: “Nja kubateekamu omukka, era mujja kulamuka.+  Nja kubateekako ebinywa n’ennyama, era nja kubabikkako olususu era mbateekemu omukka, era mujja kulamuka; mujja kumanya nti nze Yakuwa.”’”  Awo ne nnangirira nga bwe nnali ndagiddwa, era bwe nnali nkyalangirira, ne mpulira ebintu ebikoonagana, amagumba ne gatandika okwegatta buli limu ku linnaalyo.  Ne ndaba nga gazzeeko ebinywa n’ennyama, era nga gabikkiddwako olususu, naye nga tegaliimu mukka.  Awo n’aŋŋamba nti: “Langirira eri empewo. Omwana w’omuntu, langirira era ogambe empewo nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ggwe empewo,* jjangu ng’ova eri empewo ennya okuntire ku bantu bano abattibwa, balamuke.”’” 10  Awo ne nnangirira nga bwe yandagira, omukka* ne gubayingiramu, ne balamuka ne bayimirira,+ ne baba eggye ddene. 11  Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, amagumba gano ye nnyumba ya Isirayiri yonna.+ Bagamba nti, ‘Amagumba gaffe makalu era essuubi lyaffe liggwereddewo ddala.+ Twawuddwa ku balala.’ 12  Kale langirira obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Mmwe abantu bange, nja kwasamya amalaalo gammwe+ mbaggyeyo, mbatwale mu nsi ya Isirayiri.+ 13  Era mujja kumanya nti nze Yakuwa, mmwe abantu bange,+ bwe nnaayasamya amalaalo gammwe era bwe nnaabaggyayo mu malaalo gammwe.”’ 14  ‘Nja kubateekamu omwoyo gwange mulamuke,+ era mbateeke mu nsi yammwe; kale mujja kumanya nti nze Yakuwa nze nkyogedde era ne nkikola,’ bw’ayogera Yakuwa.” 15  Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti: 16  “Omwana w’omuntu, ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Gwa Yuda n’abantu ba Isirayiri abali naye.’+ Era ddira omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu, n’ab’ennyumba ya Isirayiri bonna abali naye.’+ 17  Oluvannyuma emiggo gyombi ogikwatire wamu, gibe ng’omuggo gumu mu mukono gwo.+ 18  Abantu bo* bwe banaakubuuza nti, ‘Tootubuulire bintu ebyo kye bitegeeza?’ 19  ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kuddira omuggo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri ebiri naye, mbigatte n’omuggo gwa Yuda; gyombi nja kugifuula omuggo gumu,+ era bajja kufuuka omuggo gumu mu mukono gwange.”’ 20  Emiggo gy’owandiikako gisaanidde okuba mu mukono gwo abantu bagirabe. 21  “Oluvannyuma ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Nja kuggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda, era nja kubakuŋŋaanya okuva ku buli luuyi, mbakomyewo mu nsi yaabwe.+ 22  Nja kubafuula eggwanga limu mu nsi eyo,+ ku nsozi za Isirayiri, era kabaka omu y’ajja okubafuga bonna,+ era tebajja kuddamu kuba mawanga abiri, wadde okwawulwamu okuba obwakabaka bubiri.+ 23  Tebajja kuddamu kwefuula batali balongoofu na bifaananyi byabwe ebyenyinyaza,* n’ebikolwa byabwe eby’omuzizo, era n’ebibi byabwe byonna.+ Nja kubalokola okuva mu butali bwesigwa bwabwe obwabaviirako okwonoona, era nja kubalongoosa. Bajja kuba bantu bange nange mbeere Katonda waabwe.+ 24  “‘“Omuweereza wange Dawudi y’anaaba kabaka waabwe,+ era bonna bajja kuba n’omusumba omu.+ Bajja kutambulira mu mateeka gange era bakwate ebiragiro byange n’obwegendereza.+ 25  Bajja kubeera mu nsi gye nnawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga.+ Bajja kugibeeramu emirembe gyonna,+ bo n’abaana* baabwe ne bazzukulu baabwe;+ era omuweereza wange Dawudi y’anaaba omukulembeze waabwe emirembe n’emirembe.+ 26  “‘“Nja kukola nabo endagaano ey’emirembe;+ ejja kuba ndagaano ya mirembe gyonna. Nja kubateeka mu nsi yaabwe mbaaze,+ era nja kuteeka ekifo kyange ekitukuvu wakati mu bo emirembe n’emirembe. 27  Weema yange* ejja kuba wamu nabo,* era nja kuba Katonda waabwe, era nabo bajja kuba bantu bange.+ 28  Ekifo kyange ekitukuvu bwe kinaabeera wakati mu bo emirembe n’emirembe, amawanga gajja kumanya nti nze Yakuwa nze ntukuza Isirayiri.”’”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “omukka; omwoyo.”
Oba, “omwoyo.”
Obut., “abaana b’abantu bo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Obut., “ne batabani.”
Oba, “Ekifo we mbeera; Amaka gange.”
Oba, “ku bo.”