Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ezeekyeri 2:1-10

EBIRIMU

  • Ezeekyeri alondebwa okuba nnabbi (1-10)

    • “Ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize” (5)

    • Alagibwa omuzingo oguliko ennyimba ez’okukungubaga (9, 10)

2  Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu,* yimirira njogere naawe.”+  Bwe yayogera nange, omwoyo ne gunnyingiramu ne gunnyimiriza+ nsobole okuwulira Oyo eyali ayogera nange.  N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, nkutuma eri abantu ba Isirayiri,+ eri amawanga amajeemu aganjeemedde.+ Bo ne bajjajjaabwe bamenye amateeka gange okutuusa leero.+  Nkutuma eri abaana abajeemu era ab’emitima emikakanyavu,+ obagambe nti ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna.  Ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize—kubanga ba mu nnyumba njeemu+—bajja kumanya nti waaliwo nnabbi mu bo.+  “Naye ggwe omwana w’omuntu, tobatya+ era totya bye boogera, wadde nga weetooloddwa emiyonza n’amaggwa*+ era ng’oli mu njaba. Totya bye boogera+ era totya maaso gaabwe,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu.  Ojja kubabuulira ebigambo byange, ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize, kubanga bajeemu.+  “Naye ggwe omwana w’omuntu, wuliriza bye nkugamba. Toba mujeemu ng’ennyumba eno enjeemu. Yasamya akamwa ko olye kye nkuwa.”+  Bwe nnatunula, ne ndaba omukono ogwali gugoloddwa gye ndi+ nga gukutte omuzingo* ogwali guwandiikiddwako.+ 10  Bwe yagwanjululiza mu maaso gange, gwaliko ebigambo munda ne kungulu.+ Gwali guwandiikiddwako ennyimba ez’okukungubaga, n’ebintu ebireetera abantu okunakuwala n’okukuba ebiwoobe.+

Obugambo Obuli Wansi

Ebigambo “omwana w’omuntu” bikozesebwa emirundi 93 mu kitabo kya Ezeekyeri, era nga guno gwe mulundi ogusooka.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “wadde ng’abantu bakakanyavu era nga balinga ebintu ebikufumita.”
Oba, “omuzingo gw’ekitabo.”