Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Eseza 6:1-14

EBIRIMU

  • Kabaka awa Moluddekaayi ebitiibwa (1-14)

6  Ekiro ekyo kabaka yabulwa otulo.* Bw’atyo n’alagira baleete ekitabo ky’ebyafaayo eby’omu biseera ebyo,+ ne kisomerwa mu maaso ga kabaka.  Ne basanga awaawandiikibwa nti Moluddekaayi yaloopa Bigusani ne Teresi, abakungu ba kabaka ababiri ab’omu lubiri, abakuumi b’oku mulyango, abaali bakoze olukwe okutta* Kabaka Akaswero.+  Awo kabaka n’abuuza nti: “Kitiibwa ki era mpeera ki ebyaweebwa Moluddekaayi olw’ekyo?” Abaweereza ba kabaka ne bamuddamu nti: “Tewali na kimu kyamuweebwa.”  Oluvannyuma kabaka n’abuuza nti: “Ani ali mu luggya?” Mu kiseera ekyo Kamani yali azze mu luggya olw’ebweru+ olw’ennyumba ya* kabaka, okwogera ne kabaka, Moluddekaayi awanikibwe ku kikondo kye yali amukoledde.+  Awo abaweereza ba kabaka ne bamugamba nti: “Kamani+ y’ayimiridde mu luggya.” Bw’atyo kabaka n’agamba nti: “Mumugambe ayingire.”  Kamani bwe yayingira, kabaka n’amugamba nti: “Kiki ekigwanidde okukolerwa omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa?” Awo Kamani n’agamba mu mutima gwe nti: “Ani kabaka gwe yandyagadde okuwa ebitiibwa okusinga nze?”+  Kamani n’agamba kabaka nti: “Omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa,  baleete ebyambalo+ kabaka by’ayambala n’embalaasi kabaka gye yeebagala ng’eteekeddwako eky’oku mutwe eky’obwakabaka.  Ebyambalo ebyo n’embalaasi bikwasibwe omu ku baami ba kabaka abasinga okussibwamu ekitiibwa, era bambaze omuntu oyo kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa era bamwebagaze embalaasi bamuyise mu kibangirizi ky’ekibuga nga balangirira nti, ‘Kino kye kigwanira okukolerwa omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa!’”+ 10  Amangu ago kabaka n’agamba Kamani nti: “Yanguwa otwale ebyambalo n’embalaasi nga bw’ogambye, okolere ddala bw’otyo Moluddekaayi Omuyudaaya atuula ku mulyango gwa kabaka. Mukolere byonna by’oyogedde obutalekaayo na kimu.” 11  Awo Kamani n’atwala ebyambalo n’embalaasi, n’ayambaza Moluddekaayi+ n’amwebagaza embalaasi, n’amuyisa mu kibangirizi ky’ekibuga ng’agenda alangirira nti: “Kino kye kigwanira okukolerwa omuntu kabaka gw’ayagala okuwa ebitiibwa!” 12  Oluvannyuma Moluddekaayi yaddayo ku mulyango gwa kabaka, naye ye Kamani n’ayanguwa okuddayo ewuwe ng’anakuwadde era nga yeebisse ku mutwe. 13  Kamani bwe yabuulira mukazi we Zeresi+ ne mikwano gye bonna ebintu byonna ebyali bimutuuseeko, abasajja be abagezigezi ne mukazi we Zeresi ne bamugamba nti: “Otandise okutoowazibwa mu maaso ga Moluddekaayi, era Moluddekaayi oyo bw’aba nga wa mu lulyo lw’Abayudaaya, tojja kumusinga, wabula ojja kuwangulwa mu maaso ge.” 14  Baali bakyayogera naye, abakungu ba kabaka ab’omu lubiri ne bajja, ne batwala Kamani mu bwangu ku kijjulo Eseza kye yali ateeseteese.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “otulo twa kabaka twadduka.”
Obut., “okussa omukono ku.”
Oba, “olw’olubiri lwa.”