Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Engero 3:1-35

EBIRIMU

  • Beera wa magezi, weesige Yakuwa (1-12)

    • Ssangamu Yakuwa ekitiibwa ng’omuwa ebintu byo eby’omuwendo (9)

  • Amagezi galeeta essanyu (13-18)

  • Amagezi gawa obukuumi (19-26)

  • Okweyisa obulungi eri abalala (27-35)

    • Kolera abalala ebirungi bwe kiba kisoboka (27)

3  Mwana wange teweerabiranga bye nkuyigiriza,*Era omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange,   Olyoke owangaale emyaka mingi,Era obe n’emirembe.+   Obwesigwa* n’okwagala okutajjulukuka tobiganyanga kukuvaako.+ Bisibe mu bulago bwo;Biwandiike ku mutima gwo;+   Olwo lw’ojja okusiimibwa era omanyibwe ng’omuntu omutegeevuMu maaso ga Katonda n’abantu.+   Weesigenga Yakuwa+ n’omutima gwo gwonna,Era teweesigamanga ku kutegeera kwo.+   Mulowoozengako mu byonna by’okola,+Anaatereezanga amakubo go.+   Teweetwalanga kuba wa magezi.+ Tya Yakuwa oleke ebibi.   Ekyo kijja kuwonya omubiri gwo*Era kijja kuweweeza amagumba go.   Ossangamu Yakuwa ekitiibwa n’omuwa ku bintu byo eby’omuwendo,+N’ebibala ebibereberye* eby’amakungula go gonna;+ 10  Olwo amaterekero go lwe ganajjula,+Era n’amatogero* go lwe ganajjula ne gabooga omwenge omusu. 11  Mwana wange, togaananga kukangavvula kwa Yakuwa,+Era teweetamwanga by’akugamba ng’akunenya,+ 12  Kubanga abo Yakuwa b’ayagala abanenya,+Nga taata bw’anenya omwana amusanyusa.+ 13  Alina essanyu oyo afuna amagezi,+N’oyo afuna okutegeera; 14  Okufuna amagezi kisinga okufuna ffeeza,Okuba nago kisinga okuba ne zzaabu.+ 15  Ga muwendo okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja;*Tewali kintu ky’oyinza kwegomba ekiyinza okugenkana. 16  Mu mukono gwago ogwa ddyo mulimu okuwangaala;Ne mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n’ekitiibwa. 17  Amakubo gaago malungi,Era empenda zaago zonna za mirembe.+ 18  Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagafuna,Era abo abaganywererako bajja kuyitibwa basanyufu.+ 19  Emisingi gy’ensi Yakuwa yagisimbisa magezi.+ Eggulu yalinyweza na kutegeera.+ 20  Olw’okumanya kw’alina yayawulamu amazzi,Era ebire byatonnya enkuba.+ 21  Mwana wange, ebyo* tobiggyangako maaso. Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako; 22  Bijja kukuwa obulamuEra bijja kuba ng’omukuufu omulungi mu bulago bwo; 23  Olwo ojja kutambulira mu kkubo lyo mirembe,Era ekigere kyo tekiryesittala ku kintu kyonna.*+ 24  Bw’oneebakanga tootyenga;+Oneebakanga, otulo two ne tukuwoomera.+ 25  Tolitya kintu kyonna eky’entiisa ekigwawo obugwi,+Wadde embuyaga erijjira ababi.+ 26  Kubanga obwesige bwo bujja kuba mu Yakuwa;+Ajja kukuuma ekigere kyo kireme kugwa mu mutego.+ 27  Tommanga kirungi abo b’ogwanidde okukiwa,+Bw’oba ng’osobola* okubayamba.+ 28  Togambanga munno nti, “Genda; ojja kukomawo edda. Nja kukikuwa enkya,” Ng’ate osobola okukimuweerawo. 29  Tokolanga lukwe okutuusa akabi ku munno+Ng’ate akwesiga. 30  Toyombanga na muntu awatali nsonga,+Nga talina kibi ky’akukoze.+ 31  Omuntu akola eby’obukambwe tomukwatirwanga nsaalwa,+Era tokolanga ebyo by’akola, 32  Kubanga Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa,+Naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.+ 33  Ekikolimo kya Yakuwa kiba ku nnyumba y’omubi,+Naye amaka g’abatuukirivu agawa omukisa.+ 34  Asekerera abo abakudaala,+Naye asiima abawombeefu.+ 35  Ab’amagezi bajja kufuna ekitiibwa,Naye abasirusiru beenyumiririza mu ebyo ebimalamu ekitiibwa.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mateeka gange.”
Oba, “Amazima.”
Obut., “ekkundi lyo.”
Oba, “ebisingayo obulungi.”
Oba, “amasogolero.”
Laba Awanny.
Kirabika boogera ku ngeri za Katonda ezoogerwako mu nnyiriri ezivaako waggulu.
Oba, “tekiryekoona ku kintu kyonna.”
Oba, “Bwe kiba nga kiri mu buyinza bw’omukono gwo.”