Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Engero 28:1-28

EBIRIMU

  • Okusaba kw’abatagondera mateeka kwa muzizo (9)

  • Eyeenenya asaasirwa (13)

  • Ayagala okugaggawala amangu tabulako kya kunenyezebwa (20)

  • Okunenyezebwa kusinga okuwaanibwawaanibwa (23)

  • Ow’omutima omugabi taabenga na ky’ajula (27)

28  Ababi badduka nga tewali abagoba,Naye abatuukirivu bagumu ng’empologoma.+   Ensi bw’ebaamu obujeemu, eba n’abafuzi ab’omuddiŋŋanwa,+Naye omufuzi bw’ayambibwa omuntu omutegeevu era ow’amagezi awangaala nnyo.+   Omuntu omwavu akumpanya abanaku,+Aba ng’enkuba etwala emmere yonna.   Abo abatakwata mateeka batendereza omubi,Naye abo abakwata amateeka babasunguwalira.+   Abantu ababi tebategeera bwenkanya,Naye abo abanoonya Yakuwa basobola okutegeera ebintu byonna.+   Omwavu atambulira mu bugolokofu,Asinga omugagga atambulira mu makubo amakyamu.+   Omwana omutegeevu akwata amateeka,Naye munne w’ab’omululu aswaza kitaawe.+   Oyo agaggawala olw’okuggya amagoba ku abo b’awola,+Obugagga bwe abukuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.+   Agaana okuwuliriza amateeka,N’okusaba kwe kuba kwa muzizo.+ 10  Oyo awabya omugolokofu n’amutwala mu kkubo ekkyamu ajja kugwa mu kinnya ye kennyini ky’asimye,+Naye ataliiko kya kunenyezebwa ajja kusikira ebirungi.+ 11  Omugagga alowooza nti wa magezi,+Naye omwavu ategeera asobola okumanya omugagga oyo ky’ali.+ 12  Abatuukirivu bwe bawangula, kiba kya kitiibwa,Naye ababi bwe bafuna obuyinza, abantu beekweka.+ 13  Oyo abikka ku bibi bye ebintu tebijja kumugendera bulungi,+Naye buli ayatula ebibi bye n’abireka ajja kusaasirwa.+ 14  Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera,*Naye akakanyaza omutima gwe ajja kufuna ebizibu.+ 15  Omufuzi afuga obubi abantu abateesobola,Aba ng’empologoma ewuluguma oba ng’eddubu eriswakidde.+ 16  Omukulembeze atategeera akozesa bubi obuyinza bwe,+Naye oyo akyawa okwefunira ebintu mu makubo amakyamu ajja kuwangaala.+ 17  Oyo omutima gwe gulumiriza olw’okutta omuntu anaabungeetanga okutuusa lw’aligenda mu ntaana.*+ Tewabangawo amuyamba. 18  Oyo atambulira mu bugolokofu ajja kulokolebwa,+Naye atambulira mu makubo amakyamu ajja kugwa mbagirawo.+ 19  Omuntu alima ennimiro ye anaabanga n’emmere nnyingi,Naye oyo akola ebitagasa ajja kwavuwala.+ 20  Omuntu omwesigwa anaafunanga emikisa mingi,+Naye oyo ayagala okugaggawala amangu taaleme kubaako kya kunenyezebwa.+ 21  Okusosola si kirungi;+Naye omuntu ayinza okukola ekintu ekibi olw’okwagala okufuna eky’okulya. 22  Omuntu ow’ensaalwa* ayagala nnyo okugaggawala,Kyokka n’atamanya nti aliyavuwala. 23  Oyo anenya omuntu+ oluvannyuma alisiimibwa,+Okusinga oyo akozesa olulimi lwe okumuwaanawaana. 24  Oyo anyaga kitaawe ne nnyina n’agamba nti, “Si kikyamu,”+ Aba munne w’oyo asaanyaawo ebintu.+ 25  Ow’omululu* awakula ennyombo,Naye oyo eyeesiga Yakuwa anaabanga bulungi.*+ 26  Buli eyeesiga omutima gwe musirusiru,+Naye atambulira mu magezi ajja kuwona akabi.+ 27  Buli agabira abaavu taajulenga kintu kyonna,+Naye oyo azibiriza amaaso ge aleme kubalaba alikolimirwa ebikolimo bingi. 28  Ababi bwe bafuna obuyinza, abantu beekweka;Naye bwe bazikirira abatuukirivu beeyongera.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “atya buli kiseera.”
Oba, “kinnya.”
Oba, “ow’omululu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ow’amalala.”
Obut., “ajja kugejja.”