Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Ekyamateeka 9:1-29

EBIRIMU

  • Ensonga lwaki Isirayiri yaweebwa ensi (1-6)

  • Abayisirayiri banyiiza Yakuwa emirundi ena (7-29)

    • Ennyana eya zzaabu (7-14)

    • Musa yeegayirira ku lw’abantu (15-21, 25-29)

    • Banyiiza Yakuwa emirundi emirala esatu (22)

9  “Wulira ggwe Isirayiri, leero ogenda kusomoka Yoludaani+ otwale ensi omuli amawanga agakusinga obunene n’amaanyi,+ omuli ebibuga ebinene ebiriko bbugwe atuukira ddala ku ggulu,*+  omuli abantu ab’amaanyi era abawanvu, abaana ba Anaki,+ b’omanyi era be wawulirako nga boogerwako nti, ‘Ani ayinza okwaŋŋanga abaana ba Anaki?’  Kale kimanye leero nti Yakuwa Katonda wo ajja kusomoka akukulemberemu.+ Ye muliro ogusaanyaawo+ era ajja kubasaanyaawo. Ajja kubawangula ng’olaba osobole okubagobamu mu bwangu era obazikirize, nga Yakuwa bwe yakusuubiza.+  “Yakuwa Katonda wo bw’alibagoba mu maaso go, togambanga mu mutima gwo nti, ‘Yakuwa yandeeta okutwala ensi eno olw’obutuukirivu bwange,’+ kubanga obubi bw’amawanga gano+ bwe buviiriddeko Yakuwa okugagoba mu maaso go.  Oyingira okutwala ensi yaabwe, si lwa butuukirivu bwo oba obugolokofu bw’omutima gwo; Yakuwa Katonda wo agoba amawanga gano mu maaso go+ olw’obubi bwago n’olw’okutuukiriza ekyo Yakuwa kye yalayirira bajjajjaabo, Ibulayimu,+ Isaaka,+ ne Yakobo.+  Era kimanye nti Yakuwa Katonda wo akuwa ensi eno ennungi ogitwale, kyokka tagikuwa lwa butuukirivu bwo, kubanga muli bantu bakakanyavu.*+  “Jjukira era teweerabiranga engeri gye wanyiizaamu Yakuwa Katonda wo mu ddungu.+ Okuva ku lunaku lwe mwava mu nsi ya Misiri okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino mubadde mujeemera Yakuwa.+  Ne mu Kolebu mwanyiiza Yakuwa, Yakuwa n’abasunguwalira nnyo n’ayagala okubasaanyaawo.+  Bwe nnayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande by’amayinja,+ ebipande eby’endagaano Yakuwa gye yakola nammwe,+ nnabeera ku lusozi okumala ennaku 40 emisana n’ekiro,+ nga sirya mmere era nga sinywa mazzi. 10  Yakuwa n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja ebyawandiikibwako n’engalo ya Katonda; era byaliko ebigambo byonna Yakuwa bye yali abagambye ku lusozi ng’ayima wakati mu muliro ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana.+ 11  Ku nkomerero y’ennaku 40, emisana n’ekiro, Yakuwa yampa ebipande by’amayinja ebibiri, ebipande eby’endagaano; 12  era Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Situka ove wano oserengete mangu kubanga abantu bo be waggya e Misiri beeyisizza bubi nnyo.+ Bakyuse mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira okutambuliramu. Beekoledde ekifaananyi eky’ekyuma.’*+ 13  Era Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Nkirabye nti abantu bano bakakanyavu.*+ 14  Ndeka mbazikirize era nsaanyeewo erinnya lyabwe wansi w’eggulu, ggwe nkufuule eggwanga ery’amaanyi era eddene okubasinga.’+ 15  “Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi ng’olusozi lwaka omuliro,+ era nnali nkutte ebipande ebibiri eby’endagaano mu mikono gyange gyombi.+ 16  Ne ntunula era laba, mwali mwonoonye eri Yakuwa Katonda wammwe! Mwali mwekoledde ennyana ey’ekyuma.* Mwali mukyuse mangu ne muva mu kkubo Yakuwa lye yali abalagidde okutambuliramu.+ 17  Awo nnaddira ebipande ebibiri ebyali mu mikono gyange ne mbikuba wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe.+ 18  Ne nvunnama mu maaso ga Yakuwa ennaku 40 emisana n’ekiro nga bwe nnali nkoze okusooka. Saalya mmere wadde okunywa amazzi+ olw’okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona nga mukola ekibi mu maaso ga Yakuwa ne mumunyiiza. 19  Nnatya nnyo olw’okuba Yakuwa yali abasunguwalidde nnyo+ era ng’ayagala kubazikiriza. Kyokka ne ku mulundi ogwo Yakuwa yampuliriza.+ 20  “Alooni naye Yakuwa yamusunguwalira nnyo era n’ayagala okumuzikiriza;+ naye nneegayirira ku lulwe mu kiseera ekyo. 21  Nnaddira ennyana+ gye mwali mukoze ne mwonoona ne ngyokya mu muliro ne ngibetenta ne ngisekulira ddala n’efuuka ng’enfuufu; oluvannyuma enfuufu yaayo ne ngiyiwa mu mugga ogwali gukulukuta okuva ku lusozi.+ 22  “Ate era mwasunguwaza Yakuwa nga muli e Tabera+ n’e Masa+ n’e Kiberosu-kataava.+ 23  Era Yakuwa bwe yabatuma okuva e Kadesi-baneya+ ng’agamba nti, ‘Mugende mutwale ensi gye ŋŋenda okubawa!’ mwajeemera ekiragiro kya Yakuwa Katonda wammwe,+ temwamwesiga+ era temwamugondera. 24  Mubaddenga mujeemera Yakuwa okuviira ddala ku lunaku lwe nnabamanya. 25  “Nnavunnama mu maaso ga Yakuwa okumala ennaku 40 emisana n’ekiro.+ Nnavunnama olw’okuba Yakuwa yali agambye nti agenda kubazikiriza. 26  Era nneegayirira Yakuwa ne ŋŋamba nti, ‘Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, tozikiriza bantu bo, ababo ku bubwo,*+ be wanunula n’obuyinza bwo obungi n’obaggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi.+ 27  Jjukira abaweereza bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.+ Totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano n’obubi bwabwe n’ekibi kyabwe.+ 28  Abantu b’omu nsi mwe watuggya bajja kugamba nti: “Olw’okuba Yakuwa yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza era olw’okuba yali tabaagala kyeyava abatwala abattire mu ddungu.”+ 29  Bantu bo, ababo ku bubwo,*+ be waggyayo n’amaanyi go amangi, era n’omukono gwo ogugoloddwa.’+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, bbugwe omuwanvu ennyo.
Obut., “ba nsingo nkakanyavu.”
Oba, “ekisaanuuse.”
Obut., “ba nsingo nkakanyavu.”
Oba, “ensaanuuse.”
Oba, “obusika bwo.”
Oba, “obusika bwo.”