Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Ekyamateeka 27:1-26

EBIRIMU

  • Amateeka ga kuwandiikibwa ku mayinja (1-10)

  • Ku Lusozi Ebali ne ku Lusozi Gerizimu (11-14)

  • Ebikolimo byogerwa (15-26)

27  Awo Musa awamu n’abakadde ba Isirayiri ne bayimirira mu maaso g’abantu. Musa n’agamba nti: “Mukwatenga ebiragiro byonna bye mbawa leero.  Ku lunaku lwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, osimbanga amayinja amanene n’ogasiigako ennoni.+  Era ogawandiikangako ebigambo byonna eby’Amateeka gano ng’omaze okusomoka, osobole okuyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, nga Yakuwa Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.+  Bwe mulimala okusomoka Yoludaani, musimbanga amayinja gano ku Lusozi Ebali+ ne mugasiiga ennoni, nga bwe mbalagira leero.  Era Yakuwa Katonda wo omuzimbiranga eyo ekyoto, ekyoto eky’amayinja. Togayisangako kintu kya kyuma.+  Ekyoto kya Yakuwa Katonda wo okizimbisanga amayinja agatali mateme, era n’owaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Yakuwa Katonda wo ku kyoto ekyo.  Onoowaayo ssaddaaka ez’emirembe+ n’oziriira eyo,+ era n’osanyukira mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.+  Ku mayinja owandiikangako ebigambo byonna eby’Amateeka gano+ mu ngeri etegeerekeka obulungi.”  Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne boogera ne Isirayiri yonna ne bagamba nti: “Ggwe Isirayiri, sirika owulirize. Leero ofuuse ggwanga lya Yakuwa Katonda wo.+ 10  Wulirizanga eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo era okolerenga ku biragiro bye+ n’amateeka ge bye nkulagira leero.” 11  Ku lunaku olwo Musa n’alagira abantu nti: 12  “Bwe muliba mumaze okusomoka Yoludaani, bino bye bika ebiriyimirira ku Lusozi Gerizimu+ okuwa abantu omukisa: Simiyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, Yusufu, ne Benyamini. 13  Ate bino bye biriyimirira ku Lusozi Ebali+ okulangirira ebikolimo: Lewubeeni, Gaadi, Aseri, Zebbulooni, Ddaani, ne Nafutaali. 14  Abaleevi balyogera n’eddoboozi ery’omwanguka eri abantu ba Isirayiri bonna ne babagamba nti:+ 15  “‘Omuntu akola ekifaananyi ekyole+ oba ekifaananyi eky’ekyuma,*+ ekintu eky’omuzizo eri Yakuwa,+ ekyakolebwa n’emikono gy’omukozi,* n’akikweka, akolimirwe.’ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’*) 16  “‘Omuntu anyooma kitaawe oba nnyina, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 17  “‘Omuntu ajjulula obubonero obulamba ensalosalo ya muliraanwa we, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 18  “‘Omuntu awabya muzibe okumuggya mu kkubo ettuufu, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 19  “‘Omuntu akyamya ensala y’omusango+ gw’omugwira oba ogw’omwana atalina kitaawe* oba ogwa nnamwandu,+ akolimirwe.’ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 20  “‘Omuntu eyeebaka ne muka kitaawe, akolimirwe, kubanga aba aweebudde kitaawe.’*+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 21  “‘Omuntu eyeebaka n’ensolo yonna, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 22  “‘Omuntu eyeebaka ne mwannyina, omwana wa kitaawe oba omwana wa nnyina, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 23  “‘Omuntu eyeebaka ne maama wa mukazi we, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 24  “‘Omuntu ateega munne n’amutta, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 25  “‘Omuntu akkiriza okugulirirwa okutta omuntu atalina musango, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’) 26  “‘Omuntu atassa mu nkola bigambo bya Mateeka gano, akolimirwe.’+ (Abantu bonna baliddamu nti, ‘Amiina!’)

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ekisaanuuse.”
Oba, “omubazzi era omuweesi.”
Oba, “Kibeere bwe kityo!”
Oba, “mulekwa.”
Obut., “abikkudde ekyambalo kya kitaawe.”