Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Ekyamateeka 10:1-22

EBIRIMU

  • Ebipande bibiri biddamu okukolebwa (1-11)

  • Yakuwa ky’atwetaaza (12-22)

    • Tya Yakuwa era mwagale (12)

10  “Mu kiseera ekyo Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Weetemere ebipande bibiri eby’amayinja nga biringa biri ebyasooka+ ojje gye ndi ku lusozi. Era ojja kukola n’essanduuko ey’embaawo.  Nja kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka bye wamenya, era ojja kubissa mu ssanduuko.’  Bwe ntyo nnakola essanduuko mu mbaawo z’omuti gwa sita era ne ntema ebipande by’amayinja bibiri nga biringa biri ebyasooka, ne nnyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande ebibiri mu mukono gwange.+  Awo n’awandiika ku bipande ebigambo bye bimu ng’ebyasooka,+ Ebiragiro Ekkumi,*+ Yakuwa bye yali abalagidde ku lusozi ng’ayima mu muliro,+ ku lunaku ekibiina lwe kyakuŋŋaana;+ era Yakuwa n’abimpa.  Awo ne nkyuka ne nserengeta okuva ku lusozi+ ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nnali nkoze, era biri omwo nga Yakuwa bwe yandagira.  “Awo Abayisirayiri ne basitula okuva e Beerosu Bene-yaakani okugenda e Mosera. Eyo Alooni gye yafiira era gye yaziikibwa,+ Eriyazaali mutabani we n’atandika okuweereza nga kabona mu kifo kye.+  Bwe baava eyo ne bagenda e Gudugoda, ne bava e Gudugoda ne bagenda e Yotubasa,+ ensi erimu emigga egikulukuta.  “Mu kiseera ekyo Yakuwa yayawulawo ekika kya Leevi+ okusitulanga essanduuko y’endagaano ya Yakuwa,+ okuyimiriranga mu maaso ga Yakuwa okumuweereza, n’okuwanga abantu omukisa mu linnya lye+ nga bwe bakola n’okutuusa leero.  Eyo ye nsonga lwaki Leevi talina mugabo wadde obusika mu baganda be. Yakuwa bwe busika bwe, nga Yakuwa Katonda wo bwe yamugamba.+ 10  Era nze nnamala ku lusozi ennaku 40, emisana n’ekiro,+ nga bwe nnali nkoze okusooka, era ne ku mulundi ogwo Yakuwa yampuliriza.+ Yakuwa yasalawo obutabazikiriza. 11  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Situka ogende okulemberemu abantu, bateeketeeke okusitula bagende batwale ensi gye nnalayira okuwa bajjajjaabwe.’+ 12  “Kale kaakano Isirayiri, Yakuwa Katonda wo akwetaaza ki?+ Kino ky’akwetaaza: okutyanga Yakuwa Katonda wo,+ okutambuliranga mu makubo ge gonna,+ okumwagalanga, okuweerezanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna,+ 13  n’okukwatanga ebiragiro bya Yakuwa n’amateeka ge bye nkulagira leero ku lw’obulungi bwo.+ 14  Laba, Yakuwa Katonda wo ye nnannyini ggulu, n’eggulu erisingayo okuba waggulu, n’ensi ne byonna ebigirimu.+ 15  Yakuwa yayagala bajjajjaabo bw’atyo n’alonda mmwe ezzadde lyabwe+ okuva mu mawanga gonna, nga bwe kiri leero. 16  Kale mulongoose emitima gyammwe*+ era mulekere awo okubeera abakakanyavu.*+ 17  Kubanga Yakuwa Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda bonna+ era ye Mukama wa bakama, ye Katonda ow’ekitalo, ow’amaanyi, era ow’entiisa, atasosola+ era atalya nguzi, 18  akola ku nsonga z’omwana atalina kitaawe* n’eza nnamwandu+ mu bwenkanya, era ayagala omugwira+ n’amuwa emmere n’eky’okwambala. 19  Nammwe mwagalenga omugwira, kubanga mwali bagwira mu nsi ya Misiri.+ 20  “Otyanga Yakuwa Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza+ era ye gw’obanga onywererako, era mu linnya lye mw’obanga olayirira. 21  Ye gw’obanga otendereza,+ ye Katonda wo akukoledde ebintu bino byonna eby’ekitalo era eby’entiisa amaaso go bye galabye.+ 22  Bajjajjaabo baagenda e Misiri nga bali abantu 70,+ naye kaakano Yakuwa Katonda wo akwazizza ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Ebigambo Ekkumi.”
Obut., “mukomole ekikuta ky’emitima gyammwe.”
Obut., “temuddamu kukakanyaza nsingo zammwe.”
Oba, “mulekwa.”