Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Ekyabalamuzi 12:1-15

EBIRIMU

  • Okulwanyisa Abeefulayimu (1-7)

    • Okwogera nti “Shibbolesi” (6)

  • Omulamuzi Ibuzaani, Eroni, ne Abudoni (8-15)

12  Awo abasajja ba Efulayimu ne bayitibwa ne basomoka ne bagenda mu Zafoni* ne bagamba Yefusa nti: “Lwaki tewatuyita kugenda naawe bwe wasomoka okulwanyisa Abaamoni?+ Ennyumba yo tugenda kugyokya omuliro nga mwoli.”  Naye Yefusa n’abagamba nti: “Nze n’abantu bange twali ku mbiranye n’Abaamoni. Nnabayita munnyambe naye ne mutannunula mu mukono gwabwe.  Bwe nnalaba nga temuyinza kundokola ne nsalawo okussa obulamu bwange mu kabi,* ne ŋŋenda okulwana n’Abaamoni+ era Yakuwa n’abawaayo gye ndi. Kale lwaki muzze okunnwanyisa leero?”  Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abasajja b’omu Gireyaadi+ bonna ne balwana ne Efulayimu. Abasajja b’omu Gireyaadi ne bawangula Abeefulayimu abaali bagambye nti: “Mmwe Abagireyaadi abali mu Efulayimu ne mu Manase, muli mmomboze ezaava mu Efulayimu.”  Abagireyaadi ne beesooka Abeefulayimu ku misomoko gya Yoludaani+ ne bagiwamba. Awo abasajja ba Efulayimu abaali bagezaako okudduka bwe baagambanga nti, “Ka nsomoke”; ng’abasajja ba Gireyaadi babuuza buli omu ku bo nti, “Oli Mwefulayimu?” Bwe yaddangamu nti, “Nedda!”  nga bamugamba nti, “Gamba nti, Shibbolesi,” ng’agamba nti, “Sibbolesi,” kubanga yali tayinza kukyatula bulungi. Awo nga bamukwata nga bamuttira ku misomoko gya Yoludaani. Mu kiseera ekyo abantu 42,000 okuva mu Efulayimu be baafa.  Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga, oluvannyuma Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kibuga kye mu Gireyaadi.  Bwe yavaawo, Ibuzaani ow’omu Besirekemu n’atandika okulamula Isirayiri.+  Yalina abaana ab’obulenzi 30 n’ab’obuwala 30. Yafumbiza bawala be mu bika ebirala, era n’awasiza batabani be abawala 30. Yalamula Isirayiri okumala emyaka musanvu. 10  Awo Ibuzaani n’afa, ne bamuziika mu Besirekemu. 11  Bwe yavaawo, Eroni Omuzebbulooni n’atandika okulamula Isirayiri. Yalamula Isirayiri okumala emyaka kkumi. 12  Awo Eroni Omuzebbulooni n’afa, n’aziikibwa mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni. 13  Bwe yavaawo, Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’atandika okulamula Isirayiri. 14  Yalina abaana ab’obulenzi 40 n’abazzukulu ab’obulenzi 30 abaatambuliranga ku ndogoyi 70. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana. 15  Awo Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu ku lusozi lw’Abamaleki.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “ne basomoka ne bagenda ku ludda olw’ebukiikakkono.”
Oba, “ne nsalawo okussa obulamu bwange mu mikono gyange.”