Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Ebikolwa 27:1-44

EBIRIMU

  • Pawulo asaabala okugenda e Rooma (1-12)

  • Omuyaga gukuba ekyombo (13-38)

  • Ekyombo kimenyekamenyeka (39-44)

27  Bwe kyasalibwawo tusaabazibwe tugende e Yitale,+ ne baddira Pawulo n’abasibe abalala ne babakwasa omukulu w’ekibinja ky’abasirikale ayitibwa Yuliyo ow’ekibinja kya Agusito.  Awo ne tulinnya ekyombo eky’e Adulamitiyamu ekyali kinaatera okusimbula kiyite ku myalo egiri ku lubalama lw’essaza ly’e Asiya, ne tusimbula nga tuli wamu ne Alisutaluuko+ Omumasedoniya ow’e Ssessalonika.  Olunaku olwaddako twagoba e Sidoni, era Yuliyo n’alaga Pawulo ekisa, n’amukkiriza okugenda eri mikwano gye bamulabirire.  Bwe twavaayo eyo, ne tusaabala nga tuyita ku mabbali g’ekizinga Kupulo tusobole okwewogoma omuyaga ogwali guva gye tulaga.  Twasaabala ku nnyanja nga tuyita kumpi n’ebitundu by’e Kirikiya n’e Panfuliya ne tugoba ku mwalo gw’e Mula mu Lukiya.  Eyo omukulu w’ekibinja ky’abasirikale gye yafunira ekyombo ekyali kiva mu Alekizandiriya nga kigenda mu Yitale, n’akitulinnyisa.  Oluvannyuma lw’okuseeyeeya empolampola okumala ennaku nnyingi, twatuuka e Kunido, naye nga tuyise mu buzibu bungi. Olw’okuba omuyaga gwatulemesa okweyongerayo, twayita okumpi n’ekizinga ky’e Kuleete e Salumone nga tugwewogoma.  Twayitira ddala kumpi n’olubalama nga tutegana nnyo, ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Omwalo Omulungi, ogwali okumpi n’ekibuga Lasaya.  Bwe waayitawo ekiseera kiwanvu nga n’olugendo lw’oku nnyanja lufuuse lwa kabi, era nga n’ekisiibo ky’Olunaku olw’Okutangirira+ kiweddeko, Pawulo n’abawa amagezi 10  ng’agamba nti: “Abasajja, ndaba nti olugendo lujja kuba lwa kabi era nga lugenda kubaamu okufiirwa kwa maanyi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye era n’obulamu bwaffe.” 11  Kyokka omukulu w’ekibinja ky’abasirikale yawuliriza omugoba w’ekyombo ne nnannyini kyo mu kifo ky’okuwuliriza Pawulo bye yali agamba. 12  Okuva omwalo bwe gutaali mulungi kubeerako mu biseera eby’obutiti, abasinga obungi baateesa okuvaayo balabe obanga basobola okutuuka e Foyiniiki babeere eyo mu biseera eby’obutiti; Foyiniiki gwali mwalo gw’e Kuleete ogwali gutunudde wakati w’ebukiikakkono w’ebuvanjuba n’ebukiikaddyo w’ebuvanjuba. 13  Embuyaga eyali eva mu bukiikaddyo bwe yatandika okukunta empolampola, ne balowooza nti baali batuuse ku kigendererwa kyabwe, ne basitula ennanga ne batandika okuseeyeeya nga bayita okumpi n’olubalama lwa Kuleete. 14  Kyokka waayitawo ekiseera kitono, omuyaga* ogw’amaanyi oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta nga guva ku kizinga. 15  Ekyombo bwe kyasuukundibwa ennyo ne kitasobola kugenda mu maaso omuyaga gye gwali guva, ne tukireka ne kitwalibwa omuyaga. 16  Awo ne tuyita okumpi n’akazinga akatono akayitibwa Kawuda okwewogoma omuyaga, era ne tufuba nnyo okutaakiriza akaato akatono* akaali emabega w’ekyombo. 17  Bwe baamala okukateeka ku kyombo, ne basiba ekyombo n’emiguwa okusobola okukinyweza, era olw’okuba baali batya nti kijja kutubira mu musenyu gw’e Siyatisi,* ne bassa emiguwa gy’amatanga ekyombo ne kitwalibwa embuyaga. 18  Naye olw’okuba twali tusuukundibwa nnyo omuyaga, olunaku olwaddirira baatandika okuwewula ekyombo nga basuula ebintu ebimu mu nnyanja; 19  era ku lunaku olw’okusatu, baasuula egimu ku miguwa gy’ekyombo. 20  Bwe waayitawo ennaku nnyingi ng’enjuba n’emmunyeenye tebirabikako, era ng’omuyaga ogw’amaanyi gutuyuuza, twatandika okuggwaamu essuubi ery’okuwonawo. 21  Oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga tebalya, Pawulo yayimirira wakati waabwe n’agamba nti: “Abasajja, singa mwagoberera amagezi gange ne mutava e Kuleete, akabi kano n’okufiirwa tebyandibaddewo.+ 22  Naye kaakano mbakubiriza okuba abagumu, kubanga tewali n’omu ku mmwe ajja kufiirwa bulamu bwe, wabula ekyombo kyokka kye kijja okusaanawo. 23  Kubanga Katonda gwe nsinza era gwe mpeereza, yatumye malayika+ we ekiro n’ayimirira okumpi nange, 24  n’aŋŋamba nti, ‘Totya Pawulo. Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali,+ era laba! Katonda ajja kuwonyaawo obulamu bw’abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’ 25  N’olwekyo, mugume, kubanga nnina obwesige mu Katonda nti kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. 26  Naye ekyombo kijja kumenyekeramenyekera okumpi n’ekizinga ekimu.”+ 27  Awo mu ttumbi, mu kiro eky’ekkumi n’ennya, bwe twali nga tusuukundibwa nnyo ku Nnyanja Aduliya, abalunnyanja ne balowooza nti twali tunaatera okutuuka ku lukalu. 28  Ne bapima obuwanvu bw’amazzi ne bakizuula nti bwali ebifuba 20,* era ne beeyongerayo akabanga katono mu maaso ne baddamu ne bapima ne bakizuula nti bwali ebifuba 15.* 29  Olw’okutya okutomera enjazi, ne basuula ennanga nnya okuva mu kitundu eky’emabega eky’ekyombo, ne basabirira obudde bukye. 30  Naye abalunnyanja bwe baayagala okudduka mu kyombo, era ne bassa akaato akatono mu nnyanja nga beefudde ng’abasuula ennanga okuva mu kitundu ky’ekyombo eky’omu maaso, 31  Pawulo n’agamba omukulu w’ekibinja ky’abasirikale n’abasirikale nti: “Temusobola kuwonawo okuggyako ng’abasajja bano basigadde mu kyombo.”+ 32  Awo abasirikale ne basala emiguwa gy’akaato akatono ne bakaleka ne kagwa ku mazzi. 33  Bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n’abakubiriza bonna okulya ng’agamba nti: “Leero ziweze ennaku 14 nga mulindirira era nga temulina ke mulya. 34  N’olwekyo mbakubiriza mulye ku mmere ku lw’obulungi lwammwe, kubanga tewali luviiri na lumu olw’oku mitwe gyammwe olujja okusaanawo.” 35  Bwe yamala okwogera ebyo n’akwata omugaati, ne yeebaza Katonda nga bonna balaba, n’agumenyamu n’atandika okulya. 36  Awo bonna ne baguma ne batandika okulya. 37  Ffenna abaali mu kyombo twali abantu 276. 38  Bwe baamala okulya ne bakkuta, ne bawewula ekyombo nga basuula eŋŋaano mu nnyanja.+ 39  Obudde bwe bwakya, baali tebategeera nsi gye balimu,+ naye ne balaba ekikono ky’ennyanja ekyaliko omwalo ne bamalirira okugobya okwo ekyombo singa kisoboka. 40  Awo ne basala emiguwa gy’ennanga ne bazireka ne zigwa mu nnyanja, mu kiseera kye kimu ne basumulula emiguwa gy’enkasi; era oluvannyuma lw’okuwanika ettanga ery’omu maaso empewo etwale ekyombo, ne boolekera omwalo. 41  Bwe baatuuka awaali omusenyu omungi, ekyombo ne kitubira, ekitundu eky’omu maaso ne kiyingira muli ne kinywera, naye ekitundu eky’emabega ne kimenyebwamenyebwa amayengo.+ 42  Ekyo bwe kyabaawo, abasirikale ne basalawo okutta abasibe waleme kubaawo awuga n’atoloka. 43  Naye omukulu w’ekibinja ky’abasirikale yali amaliridde okuwonya obulamu bwa Pawulo, n’abagaana okukola kye baali bateesezza. N’alagira abo abaali basobola okuwuga bagwe mu mazzi bawuge be baba basooka okutuuka ku lukalu, 44  n’oluvannyuma abalala babagoberere, ng’abamu bagendera ku bibaawo, abalala ku bitundutundu by’ekyombo. Awo bonna ne batuuka bulungi ku lukalu.+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, omuyaga oguva wakati w’ebukiikakkono n’ebuvanjuba.
Akaato kano kaakozesebwanga ng’ekyombo kifunye obuzibu.
Laba Awanny.
Mita nga 36 (ffuuti 120). Laba Ebyong. B14.
Mita nga 27 (ffuuti 90). Laba Ebyong. B14.