Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Ebikolwa 16:1-40

EBIRIMU

  • Pawulo alonda Timoseewo (1-5)

  • Okwolesebwa okukwata ku musajja ow’e Masedoniya (6-10)

  • Liidiya ow’e Firipi afuuka Omukristaayo (11-15)

  • Pawulo ne Siira basibibwa mu kkomera ((16-24)

  • Omukuumi w’ekkomera n’ab’ennyumba ye babatizibwa (25-34)

  • Pawulo asaba ab’obuyinza bamwetondere (35-40)

16  Awo n’atuuka mu Derube ne mu Lusitula.+ Eyo waaliyo omuyigirizwa ayitibwa Timoseewo,+ omwana w’omukyala Omuyudaaya eyali omukkiriza naye nga kitaawe Muyonaani,  era ab’oluganda mu Lusitula ne Ikoniyo baali bamwogerako bulungi.  Pawulo n’ayagala Timoseewo agende naye, n’amutwala n’amukomola kubanga Abayudaaya b’omu bitundu ebyo+ bonna baali bamanyi nti kitaawe yali Muyonaani.  Bwe baagenda bayita mu bibuga, baabuuliranga abaayo eby’okugoberera ebyali bisaliddwawo abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi.+  Awo ebibiina ne byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga buli lunaku.  Ne bayita mu Fulugiya ne mu kitundu ky’e Ggalatiya+ kubanga omwoyo omutukuvu gwabagaana okubuulira ekigambo mu ssaza ly’e Asiya.  Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda mu Bisuniya,+ naye omwoyo gwa Yesu ne gutabakkiriza kugendayo.  Awo ne bayita mu Musiya ne batuuka mu Tulowa.  Naye ekiro Pawulo n’afuna okwolesebwa, n’alaba omusajja ow’e Masedoniya ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti: “Jjangu e Masedoniya otuyambe.” 10  Amangu ddala nga yaakafuna okwolesebwa, twagenda e Masedoniya, nga tukitegedde nti Katonda yali atutumye okubabuulira amawulire amalungi. 11  Awo ne tusaabala okuva e Tulowa ne tugenda butereevu mu Samoserakiya, naye ku lunaku olwaddako ne tugenda e Neyapoli; 12  bwe twavaayo, ne tugenda mu Firipi,+ ettwale lya Rooma, ekibuga ekikulu mu ssaza ly’e Masedoniya, ne tubeera mu kibuga ekyo okumala ennaku ntono. 13  Ku lunaku lwa Ssabbiiti twafuluma omulyango ne tugenda ku mabbali g’omugga, gye twalowooza nti eriyo ekifo eky’okusabiramu, ne tutuula ne tutandika okwogera n’abakazi abaali bakuŋŋaanye. 14  Waaliwo omukazi ayitibwa Liidiya eyatundanga engoye eza kakobe, eyali ava mu kibuga ky’e Suwatira+ era ng’asinza Katonda. Yali awuliriza era Yakuwa* yaggula omutima gwe n’akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera. 15  Ye n’ab’ennyumba ye bwe baabatizibwa,+ n’atwegayirira ng’agamba nti: “Bwe muba mulabye nti ndi mwesigwa eri Yakuwa,* mujje mu nnyumba yange mubeere omwo.” Bw’atyo n’atukkirizisa. 16  Bwe twali tugenda mu kifo eky’okusabiramu, omuwala omuweereza eyaliko dayimooni eragula+ n’atusisinkana. Yafuniranga bakama be ebintu bingi olw’okulagula. 17  Omuwala ono yatugobereranga nga bw’aleekaana nti: “Abasajja bano baddu ba Katonda Asingayo Okuba Waggulu+ era bababuulira ekkubo ery’obulokozi.” 18  Kino yakikolera ennaku nnyingi. Pawulo yalwaddaaki ne yeetamwa, n’akyuka n’agamba dayimooni nti: “Mu linnya lya Yesu Kristo nkulagira omuveeko.” N’emuvaako amangu ago.+ 19  Bakama be bwe baalaba ng’essuubi lyabwe ery’okufuna ebintu liweddewo,+ ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula ne babatwala mu katale* eri ab’obuyinza.+ 20  Bwe baabatuusa eri ab’obuyinza ne bagamba nti: “Abasajja bano bakyankalanya nnyo ekibuga kyaffe.+ Bayudaaya, 21  era bayigiriza empisa ffe ng’Abaruumi ze tutakkirizibwa kugoberera mu mateeka gaffe.” 22  Awo abantu bonna ne babakambuwalira; era ab’obuyinza ne bayuza ebyambalo bya Pawulo ne Siira ne balagira bakubibwe emiggo.+ 23  Bwe baamala okubakuba ennyo, ne babateeka mu kkomera, ne balagira omukuumi w’ekkomera abakuume butiribiri.+ 24  Olw’okuba bwe batyo bwe baali bamulagidde, yabasibira mu kkomera ery’omunda era ebigere byabwe n’abiteeka mu nvuba. 25  Naye ekiro awo nga mu ttumbi, Pawulo ne Siira baali basaba era nga bayimba ennyimba ezitendereza Katonda,+ era abasibe abalala baali babawulira. 26  Amangu ago musisi ow’amaanyi n’ayita, n’akankanya omusingi gw’ekkomera. Ate era enzigi zonna ne zeggula, n’enjegere ezaali zibasibye ne zisumulukuka.+ 27  Omukuumi w’ekkomera bwe yasisimuka n’alaba ng’enzigi z’ekkomera nzigule, n’asowolayo ekitala kye okwetta, ng’alowooza nti abasibe batolose.+ 28  Naye Pawulo n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Teweekolako kabi, ffenna weetuli!” 29  N’asaba ettaala n’adduka n’ayingira ng’akankana, n’afukamira mu maaso ga Pawulo ne Siira. 30  N’abafulumya ebweru n’abagamba nti: “Bassebo, kiki kye nteekwa okukola okusobola okulokolebwa?” 31  Ne bamuddamu nti: “Kkiriza Mukama waffe Yesu, ojja kulokolebwa awamu n’ab’omu nnyumba yo.”+ 32  Awo ne bamubuulira ekigambo kya Yakuwa* awamu n’ab’omu nnyumba ye bonna. 33  N’abatwala ku ssaawa eyo ekiro n’abanyiga ebiwundu, oluvannyuma ye n’ab’omu nnyumba ye bonna ne babatizibwa awatali kulwa.+ 34  Awo n’abayingiza mu nnyumba ye n’abagabula ekijjulo, n’asanyuka nnyo awamu n’ab’omu nnyumba ye bonna kubanga yali akkirizza Katonda. 35  Obudde bwe bwakya, ab’obuyinza ne batuma abasirikale okumugamba nti: “Abasajja abo bate.” 36  Omukuumi w’ekkomera n’agamba Pawulo nti: “Ab’obuyinza batumye abasajja okuŋŋamba nti mbate. Kale mufulume mugende mirembe.” 37  Naye Pawulo n’abagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tewali musango gwe batuvunaana,* era ne batuteeka mu kkomera so nga tuli basajja Baruumi.+ Kati baagala kututa mu kyama? Nedda! Bo bennyini bajje batuggyeyo.” 38  Abasirikale ne bagenda ne babuulira ab’obuyinza ebigambo ebyo. Bwe baawulira nti abasajja abo Baruumi+ ne batya nnyo. 39  Awo ne bajja ne babeegayirira, bwe baamala okubaggyayo, ne babasaba bave mu kibuga. 40  Ne bava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Liidiya, era bwe baalaba ab’oluganda, ne babazzaamu amaanyi+ ne bagenda.

Obugambo Obuli Wansi

Kino kyalinga kibangirizi mwe baatundiranga ebintu era nga bakubirawo n’enkuŋŋaana.
Oba, “nga tetuwozeseddwa.”