Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Amosi 3:1-15

EBIRIMU

  • Okulangirira omusango Katonda gw’asaze (1-8)

    • Katonda abuulira abaweereza be ekyama kye (7)

  • Obubaka obw’omusango obukwata ku Samaliya (9-15)

3  “Muwulire ekigambo kino Yakuwa ky’aboogeddeko mmwe abantu ba Isirayiri, ekikwata ku ggwanga lye yaggya mu nsi ya Misiri. Agamba nti:   ‘Mmwe mmwekka be nnamanya mu mawanga gonna ag’oku nsi.+ Kyendiva mbabonereza olw’ensobi zammwe zonna.+   Ababiri bayinza okutambulira awamu nga tebamaze kulagaana kusisinkana?   Empologoma eyinza okuwulugumira mu kibira nga terina ky’eyizze? Empologoma envubuka eyinza okufugulira mu kifo kye yeekwekamu nga terina ky’ekutte?   Ekinyonyi kiyinza okugwa mu mutego wansi ku ttaka nga tewali kye bakiteze? Omutego guyinza okumasuka nga tewali kye gukutte?   Eŋŋombe bw’efuuyibwa mu kibuga, abantu tebakankana? Akabi bwe kagwa mu kibuga, Yakuwa si y’aba akaleese?   Yakuwa Mukama Afuga Byonna talikola kintu kyonnaNga tasoose kubuulira baweereza be bannabbi ekyama kye.+   Empologoma ewulugumye,+ ani ataatye? Yakuwa Mukama Afuga Byonna ayogedde! Ani ataalangirire bunnabbi?’+   ‘Mukirangirire ku minaala gy’omu AsudodiNe ku minaala gy’omu nsi ya Misiri. Mugambe nti: “Mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya;+Mulabe emivuyo egikirimuN’obukumpanya obuli munda mu kyo.+ 10  Tebamanyi kukola kituufu,” Yakuwa bw’agamba,“Abo abatereka mu bigo byabwe ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza.”’ 11  N’olwekyo, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba,‘Omulabe alyetooloola ensi;+Alikuggyako amaanyi go,Era ebigo byo birinyagibwa.’+ 12  Bw’ati Yakuwa bw’agamba,‘Ng’omusumba bw’asika mu kamwa k’empologoma amagulu abiri ag’endiga oba ekitundu ky’okutu,N’abaana ba Isirayiri bwe batyo bwe balisikibwa,Abo abatuula mu Samaliya ku bitanda ebirabika obulungi ne ku ntebe* ennungi.’+ 13  ‘Muwulire era mulabule* ennyumba ya Yakobo,’ Yakuwa Mukama Afuga Byonna, Katonda ow’eggye bw’agamba. 14  ‘Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isirayiri olw’obujeemu bwe bwonna,*+Ndizikiriza n’ebyoto eby’omu Beseri;+Amayembe g’ekyoto galitemebwako ne gagwa wansi.+ 15  Ndizikiriza amayumba ge babeeramu mu kiseera eky’obutiti n’amayumba ge babeeramu mu kiseera eky’omusana.’ ‘Amayumba ag’amasanga galisaanawo,+Era amayumba ag’ekitiibwa* galiggwaawo,’+ Yakuwa bw’agamba.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ku ntebe z’e Ddamasiko.”
Oba, “muwe obujulirwa ku.”
Oba, “olw’ebikolwa bye byonna eby’obumenyi bw’amateeka.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “amayumba amangi.”