Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Abebbulaniya 8:1-13

EBIRIMU

  • Weema entukuvu kifaananyi eky’ebintu eby’omu ggulu (1-6)

  • Endagaano empya egeraageranyizibwa n’eyasooka (7-13)

8  Eno ye nsonga enkulu mu ebyo bye twogerako: Tulina kabona asinga obukulu bw’atyo,+ era atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ey’Ow’Ekitiibwa mu ggulu,+  omuweereza* w’omu kifo ekitukuvu+ ne mu weema yennyini eyateekebwawo Yakuwa,* so si muntu.  Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka; n’olwekyo, ono naye kyali kimwetaagisa okubaako ky’awaayo.+  Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona,+ kubanga waliwo abantu abawaayo ebirabo ng’Amateeka bwe galagira.  Abantu abo bakola emirimu gy’obuweereza obutukuvu, era obuweereza obwo kifaananyi era kisiikirize+ ky’ebintu eby’omu ggulu;+ nga Katonda bwe yawa Musa ekiragiro ng’anaatera okukola omulimu ogw’okuzimba weema. Yamugamba nti: “Kakasa nti okola ebintu byonna ng’ogoberera pulaani ekulagiddwa ku lusozi.”+  Naye kaakano Yesu aweereddwa obuweereza obusingawo obulungi kubanga ye mutabaganya+ w’endagaano esingako obulungi,+ eyeesigamiziddwa ku bisuubizo ebisinga obulungi+ era ng’eteekeddwawo mu mateeka.  Singa endagaano eyasooka teyaliiko kya kunenyezebwa, ey’okubiri yandibadde teyeetaagisa.+  Kubanga anenya abantu bw’agamba nti: “‘Laba! Ennaku zijja,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘lwe ndikola endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri era n’ennyumba ya Yuda.  Teriba ng’endagaano gye nnakola ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi ya Misiri,+ kubanga baamenya endagaano yange, nange ne ndekera awo okubafaako,’ Yakuwa* bw’agamba. 10  “‘Eno ye ndagaano gye ndikola n’ennyumba ya Isirayiri oluvannyuma lw’ennaku ezo,’ Yakuwa* bw’agamba. ‘Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, era ndigawandiika mu mitima gyabwe.+ Ndibeera Katonda waabwe era nabo baliba bantu bange.+ 11  “‘Era buli muntu aliba takyayigiriza mutuuze munne, era buli omu aliba takyayigiriza muganda we ng’agamba nti: “Manya Yakuwa!”* Kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto okutuuka ku mukulu. 12  Kubanga ndibasonyiwa ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.’”+ 13  Bw’ayogera ku “ndagaano empya,” eyo eyasooka aba agidibizza.+ Bwe kityo, eyo edibiziddwa era ekaddiye eneetera okuggwaawo.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “aweereza ku lw’abantu bonna.”