Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Abebbulaniya 5:1-14

EBIRIMU

  • Yesu asinga bakabona ab’oku nsi (1-10)

    • Nga Merukizeddeeki (6, 10)

    • Yayiga obuwulize mu kubonaabona kwe yayitamu (8)

    • Yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuwa abalala obulokozi obutaggwaawo (9)

  • Okulabula ku butakulaakulana (11-14)

5  Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa mu bantu, alondebwa okuweereza Katonda+ ku lwabwe asobole okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka olw’ebibi.+  Asobola okukwata obulungi* abo abatamanyi era abasobya, okuva bwe kiri nti naye kennyini alina obunafu bwe.  Era olw’ensonga eyo, kimwetaagisa okuwaayo ebiweebwayo olw’ebibi bye nga bw’abiwaayo olw’ebibi by’abantu.+  Omuntu tayinza kufuna kitiibwa kino ku lulwe okuggyako nga Katonda y’amuyise, nga Alooni bwe yayitibwa.+  Bwe kityo, ne Kristo teyeegulumiza+ nga yeefuula kabona asinga obukulu, wabula yagulumizibwa Oyo eyamwogerako ng’agamba nti: “Oli mwana wange; olwa leero nfuuse Kitaawo.”+  Era nga bw’agamba mu kifo ekirala nti: “Oli kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.”+  Kristo bwe yali ku nsi* yakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka era n’akulukusa amaziga nga yeegayirira era ng’asaba+ Oyo eyali ayinza okumulokola mu kufa, era yawulirwa olw’okuba yali atya Katonda.  Wadde nga yali mwana, yayiga obuwulize olw’ebintu bye yayitamu ng’abonaabona;+  era bwe yamala okufuulibwa atuukiridde,+ yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuwa abo bonna abamugondera obulokozi obutaggwaawo,+ 10  kubanga Katonda yennyini ye yamulonda okuba kabona asinga obukulu nga Merukizeddeeki.+ 11  Tulina bingi bye tuyinza okumwogerako, naye bizibu okunnyonnyola, kubanga mufuuse abantu abategeera empola.* 12  Mazima ddala, wadde nga kaakano mwandibadde bayigiriza,* mukyetaaga nate omuntu okubayigiriza okuva ku ntandikwa ebintu ebisookerwako+ eby’ebigambo bya Katonda ebitukuvu, era mufuuse abo abeetaaga amata so si emmere enkalubo. 13  Kubanga buli asigala ng’anywa mata aba tamanyi kigambo kya butuukirivu, olw’okuba aba mwana muto.+ 14  Kubanga emmere enkalubo ya bantu bakulu, abo abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okukwata n’obusaasizi.”
Obut., “Mu nnaku z’omubiri gwe.”
Oba, “mufuuse abatawulira bulungi.”
Obut., “mwandibadde bayigiriza olw’ekiseera ekiyiseewo.”