Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Abebbulaniya 1:1-14

EBIRIMU

  • Katonda ayogera ng’ayitira mu Mwana we (1-4)

  • Omwana asinga bamalayika (5-14)

1  Edda ennyo Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi era mu ngeri nnyingi, ng’ayitira mu bannabbi.+  Mu kiseera kino* ayogedde gye tuli ng’ayitira mu Mwana we+ gwe yalonda okuba omusika w’ebintu byonna,+ era mu ye mwe yayitira okukola ebintu byonna.*+  Oyo y’ayoleka ekitiibwa kya Katonda,+ era ye kye kifaananyi kye kyennyini,+ era abeesaawo ebintu byonna okuyitira mu kigambo ky’amaanyi ge. Bwe yamala okutunaazaako ebibi+ n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’Ow’Ekitiibwa mu ggulu.+  N’olwekyo, afuuse mukulu okusinga bamalayika+ okuva bw’afunye* erinnya erisinga agaabwe.+  Ng’ekyokulabirako, malayika ki Katonda ggwe yali agambye nti: “Oli mwana wange;+ olwa leero nfuuse kitaawo”? Era nti: “Ndiba kitaawe, era naye aliba mwana wange”?+  Naye ayogera bw’ati ku kiseera lw’aliddamu okuleeta Omubereberye+ we ku nsi: “Era bamalayika ba Katonda bonna ka bamuvunnamire.”  Era ayogera bw’ati ku bamalayika: “Bamalayika be abafuula myoyo, n’abaweereza be+ abafuula nnimi za muliro.”+  Kyokka bw’aba ayogera ku Mwana we agamba bw’ati: “Katonda ye ntebe yo ey’obwakabaka+ emirembe n’emirembe, era ddamula y’Obwakabaka bwo ya bwenkanya.  Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu. Eyo ye nsonga lwaki Katonda, Katonda wo, yakufukako amafuta+ ag’okusanyuka okusinga banno.”+ 10  Era nti: “Ggwe ai Mukama, ku lubereberye wassaawo emisingi gy’ensi, n’eggulu nalyo mulimu gwa mikono gyo. 11  Birisaanawo naye ggwe olisigalawo; byonna birikaddiwa ng’olugoye, 12  olibizingako ng’olugoye; birikyusibwa ng’ekyambalo. Naye ggwe tokyuka, era emyaka gyo tegirikoma.”+ 13  Naye ani ku bamalayika gwe yali agambye nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo”?+ 14  Bonna si myoyo egiweereza mu buweereza obutukuvu,+ egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi?

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Ku nkomerero y’ennaku zino.”
Oba, “enteekateeka z’ebintu.” Mu Luyonaani, ai·o nʹas. Laba Awanny.
Obut., “bw’asikidde.”