Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Abaruumi 4:1-25

EBIRIMU

  • Ibulayimu yayitibwa mutuukirivu lwa kukkiriza (1-12)

    • Ibulayimu, kitaawe w’abo abalina okukkiriza (11)

  • Ibulayimu yaweebwa ekisuubizo olw’okukkiriza (13-25)

4  Ekyo bwe kiba bwe kityo, tugambe nti jjajjaffe Ibulayimu yafuna ki?  Singa Ibulayimu yayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa bye, yandibadde alina ky’asinziirako okwenyumiriza, naye si mu maaso ga Katonda.  Ekyawandiikibwa kigamba ki? “Ibulayimu n’akkiririza mu Yakuwa* n’abalibwa okuba omutuukirivu.”+  Omuntu akola, empeera gy’aweebwa tetwalibwa ng’ekisa eky’ensusso ekimulagiddwa, wabula ng’ebbanja eririna okumusasulwa.  Ku luuyi olulala, omuntu atakola naye ng’akkiririza mu Oyo ayita omwonoonyi omutuukirivu, abalibwa okuba omutuukirivu olw’okukkiriza kwe.+  Era Dawudi ayogera ku ssanyu ly’omuntu Katonda gw’abala ng’omutuukirivu awatali bikolwa. Agamba nti:  “Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako* ebibi byabwe;  alina essanyu omuntu Yakuwa* gw’atalibalira kibi kye.”+  Essanyu lino lifunibwa bakomole bokka, oba n’abatali bakomole?+ Tugamba nti: “Ibulayimu yabalibwa okuba omutuukirivu lwa kukkiriza.”+ 10  Yali mu mbeera ki bwe yabalibwa okuba omutuukirivu? Nga mukomole oba nga si mukomole? Nga tannakomolebwa, so si ng’amaze okukomolebwa. 11  Katonda yamulagira okukomolebwa ng’akabonero+ akalaga obutuukirivu olw’okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa, asobole okubeera kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza+ nga si bakomole, nabo basobole okubalibwa ng’abatuukirivu; 12  era asobole okubeera kitaawe w’abakomole, kyokka si bakomole bokka, naye era n’abo abooleka okukkiriza ng’okwo jjajjaffe Ibulayimu+ kwe yalina nga si mukomole. 13  Ibulayimu n’ezzadde lye baaweebwa ekisuubizo ky’okusikira ensi+ olw’obutuukirivu bwe yafuna olw’okukkiriza so si olw’amateeka.+ 14  Bwe kiba nti abo abanywerera ku mateeka be basika, okukkiriza kuba tekugasa era n’ekisuubizo kiba kiggiddwawo. 15  Ekituufu kiri nti, Amateeka galeeta obusungu bwa Katonda,+ naye awataba mateeka tewaba kwonoona.+ 16  Eyo ye nsonga lwaki ekisuubizo ekyo kyaweebwa lwa kukkiriza kiryoke kibe nga kyesigamye ku kisa eky’ensusso,+ ezzadde lye lyonna liryoke libe n’ekisuubizo ekyo,+ si abo bokka abanywerera ku Mateeka naye era n’abo abanywerera ku kukkiriza kwa Ibulayimu, kitaffe ffenna.+ 17  (Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkulonze okubeera kitaawe w’amawanga mangi.”)+ Kino kyaliwo mu maaso ga Katonda gwe yali akkiririzaamu, azuukiza abafu era ayogera ku bintu ebitaliiwo ng’ebiriwo.* 18  Yalina essuubi era yali akkiriza nti ajja kufuuka kitaawe w’amawanga amangi, wadde nga tewaaliwo kisinziirwako kuba na ssuubi eryo. Yali akkiririza mu ekyo ekyayogerwa nti: “Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”+ 19  Wadde nga teyaddirira mu kukkiriza, yalowooza ku mubiri gwe ogwali ng’ogufudde (kubanga yali aweza emyaka nga 100),+ era yalowooza ne ku ky’okuba nti Saala yali tazaala.*+ 20  Naye olw’ekisuubizo kya Katonda, teyaddirira mu kukkiriza, naye yafuuka wa maanyi olw’okukkiriza kwe, n’agulumiza Katonda, 21  era yali mukakafu ddala nti Katonda yali asobola okutuukiriza kye yasuubiza.+ 22  Bwe kityo “n’abalibwa okuba omutuukirivu.”+ 23  Kyokka ekigambo “n’abalibwa” tekyawandiikibwa ku lulwe yekka,+ 24  naye era ne ku lwaffe abajja okubalibwa ng’abatuukirivu, kubanga tukkiriza Oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe okuva mu bafu.+ 25  Yaweebwayo ku lw’ebibi byaffe+ era n’azuukizibwa, Katonda asobole okutuyita abatuukirivu.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abasonyiyiddwa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “aleteera ebintu ebitaliiwo okubaawo.”
Oba, “yali mugumba.”