Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Abaruumi 10:1-21

EBIRIMU

  • Okufuna obutuukirivu bwa Katonda (1-15)

    • Okwatula mu lujjudde (10)

    • Okukoowoola erinnya lya Yakuwa (13)

    • Ebigere by’ababuulizi ebirabika obulungi (15)

  • Amawulire amalungi gagaanibwa (16-21)

10  Ab’oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, nti balokolebwe.+  Mbawaako obujulirwa nti banyiikira okuweereza Katonda;+ naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.  Olw’obutamanya mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu,+ naye ne beeteerawo egyabwe ku bwabwe,+ tebaagoberera mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu.+  Kubanga Kristo ye nkomerero y’Amateeka,+ buli akkiriza asobole okufuna obutuukirivu.+  Musa yawandiika ku butuukirivu obufunibwa okuyitira mu Mateeka n’agamba nti: “Omuntu akola ebintu ebyo anaabanga mulamu olw’ebyo.”+  Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba nti: “Togambanga mu mutima gwo nti,+ ‘Ani anaalinnya mu ggulu?’+ kwe kugamba, okuleeta Kristo ku nsi;  oba, ‘Ani anakka mu bunnya?’+ kwe kugamba, okuggya Kristo mu bafu.”  Naye Ekyawandiikibwa kigamba ki? Kigamba nti: “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo”;+ kwe kugamba, “ekigambo” eky’okukkiriza kye tubuulira.  Kubanga, singa olangirira mu lujjudde n’akamwa ko nti Yesu ye Mukama waffe,+ era n’okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, ojja kulokolebwa. 10  Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe okufuna obutuukirivu, naye ayatula na kamwa ke mu lujjudde+ okufuna obulokozi. 11  Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Tewali n’omu amukkiririzaamu aliswala.”+ 12  Kubanga tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani.+ Bonna Mukama waabwe y’omu, agabira mu bungi abo bonna abamukoowoola. 13  Kubanga “buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa* alirokolebwa.”+ 14  Naye banaakoowoola batya gwe batannakkiririzaamu? Era banakkiririza batya mu gwe batannawulirako? Era banaawulira batya nga tewali abuulira? 15  Era banaabuulira batya nga tebatumiddwa?+ Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Ebigere by’abo abalangirira amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi nga birabika bulungi!”+ 16  Naye si bonna nti baagondera amawulire amalungi. Kubanga Isaaya yagamba nti: “Yakuwa,* ani akkiririzza mu kigambo kye twawulira?”+ 17  N’olwekyo, okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo.+ Era ekigambo kiwulirwa nga waliwo ayogera ebikwata ku Kristo. 18  Naye ka mbuuze, Tebaawulira? Ddala baawulira, kubanga “eddoboozi lyabyo lyabuna ensi yonna, era obubaka bwabyo bwatuuka ensi gy’ekoma.”+ 19  Ka mbuuze, Isirayiri teyamanya?+ Okusooka Musa agamba nti: “Ndibakwasa obuggya nga nkozesa eggwanga eritalina mugaso; ndibaleetera okusunguwala nga nkozesa eggwanga essirusiru.”+ 20  Naye Isaaya ayoleka obuvumu bwa maanyi n’agamba nti: “Nnazuulibwa abo abaali batannoonya;+ nnamanyibwa abo abaali batambuulirizaako.”+ 21  Kyokka ayogera bw’ati ku Isirayiri: “Olunaku lwonna ngololedde emikono gyange abantu abajeemu era abawaganyavu.”+

Obugambo Obuli Wansi