Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Abakkolosaayi 3:1-25

EBIRIMU

  • Omuntu omuggya n’omukadde (1-17)

    • Mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri (5)

    • Okwagala kwe kunywereza ddala obumu (14)

  • Okubuulirira eri amaka (18-25)

3  Naye bwe muba nga mwazuukirira wamu ne Kristo,+ mweyongere okunoonya ebintu eby’omu ggulu, eyo Kristo gy’atudde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.+  Ebirowoozo byammwe mubikuumire ku bintu eby’omu ggulu+ so si eby’oku nsi.+  Kubanga mwafa, era obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.  Kristo, obulamu bwaffe,+ bw’anaalabisibwa, nammwe mujja kulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.+  N’olwekyo, mufiise ebitundu byammwe eby’omubiri+ ebiri ku nsi ku bikwata ku bugwenyufu,* ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta,+ okuyaayaanira ebintu ebibi, n’omululu, nga kwe kusinza ebifaananyi.  Ku lw’ebintu ebyo, obusungu bwa Katonda bujja.  Bwe mutyo nammwe bwe mweyisanga* edda.+  Naye kati byonna mubyeggireko ddala: obusungu, ekiruyi, ebikolwa ebibi,+ okuvuma,+ n’eby’obuwemu,+ tebiyitanga mu kamwa kammwe.  Temulimbagananga.+ Mweyambuleko omuntu ow’edda+ n’ebikolwa bye, 10  mwambale omuntu omuggya,+ oyo afuulibwa omuggya okuyitira mu kumanya okutuufu, mu kifaananyi ky’Oyo eyamutonda.+ 11  Olwo waba tewakyaliwo Muyonaani wadde Omuyudaaya, okukomolebwa oba obutakomolebwa, omugwira, Omusukusi,* omuddu, oba ow’eddembe; naye Kristo ye byonna mu byonna.+ 12  Kale, ng’abalonde ba Katonda+  abatukuvu era abaagalwa, mwambale obusaasizi,+ ekisa, obuwombeefu,+ obukkakkamu+ n’obugumiikiriza.+ 13  Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga+ omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.+ Era nga Yakuwa* bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.+ 14  Naye okugatta ku ebyo byonna, mwambale okwagala+ kubanga kwe kunywereza ddala obumu.+ 15  Ate era, emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe,+ kubanga egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu. Era, mulage nti musiima. 16  Ekigambo kya Kristo ka kikolere mu mmwe mu bujjuvu kibaleetere amagezi gonna. Muyigirizaganenga era muzziŋŋanemu amaanyi* nga mukozesa zabbuli,+ ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo eziyimbibwa n’essanyu, nga muyimbira Yakuwa* mu mitima gyammwe.+ 17  Buli kimu kye mukola mu bigambo oba mu bikolwa, mukikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe okuyitira mu ye.+ 18  Mmwe abakyala, mugonderenga abaami bammwe+ nga bwe kigwanira mu Mukama waffe. 19  Mmwe abaami, mwagalenga bakyala bammwe+ era temubasunguwaliranga.*+ 20  Mmwe abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu buli kimu,+ kubanga kino kisanyusa Mukama waffe. 21  Mmwe bataata, temunyiizanga baana bammwe,+ baleme okuggwaamu amaanyi. 22  Mmwe abaddu, mugonderenga bakama bammwe ab’oku nsi*+ mu buli kimu, si mu biseera ebyo byokka nga babalaba, olw’okwagala okusanyusa obusanyusa abantu, naye nga mukola n’omutima omwesimbu nga mutya Yakuwa.* 23  Buli kye mukola, mukikolenga n’omutima gwammwe gwonna, ng’abakolera Yakuwa*+ so si abantu, 24  kubanga mumanyi nti Yakuwa* y’ajja okubawa obusika ng’empeera.+ Muweereze Mukama waffe, Kristo. 25  Awatali kubuusabuusa, oyo akola ekikyamu ajja kufuna empeera okusinziira ku ekyo kye yakola,+ kubanga Katonda tasaliriza.+

Obugambo Obuli Wansi

Mu Luyonaani, por·neiʹa. Laba Awanny.
Oba, “mwatambulanga.”
“Omusukusi” kyali kitegeeza omuntu atali mugunjufu.
Oba, “mubuuliraganenga.”
Oba, “temubakambuwaliranga.”
Obut., “ab’omubiri.”