Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

2 Samwiri 22:1-51

EBIRIMU

  • Dawudi atendereza Katonda olw’okumulokola (1-51)

    • “Yakuwa lwe lwazi lwange” (2)

    • Yakuwa aba mwesigwa eri abeesigwa (26)

22  Dawudi yayimbira Yakuwa oluyimba luno+ ku lunaku Yakuwa lwe yamununula mu mukono gw’abalabe be bonna+ ne mu mukono gwa Sawulo.+  Yagamba nti: “Yakuwa lwe lwazi lwange era kye kigo kyange;+ y’annunula.+   Katonda wange lwe lwazi lwange+ mwe nzirukira,Ye ngabo yange+ era lye jjembe* lyange ery’obulokozi;* kye kiddukiro kyange,+Kye kifo mwe nzirukira,+ era ye mulokozi wange;+ ggwe omponya ebikolwa eby’obukambwe.   Nkoowoola Yakuwa, oyo agwanidde okutenderezebwa,Era nja kununulibwa mu mukono gw’abalabe bange.   Amayengo g’okufa ganneetooloola;+Abantu abatalina mugaso abalinga mukoka ow’amaanyi bantiisa.+   Emiguwa gy’emagombe* gyanneezingirira;+Ebyambika by’okufa byanjolekera.+   Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa,+Nnakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye,Era amatu ge gaawulira okuwanjaga kwange.+   Ensi yatandika okukankana n’okuyuuguuma;+Emisingi gy’eggulu gyakankana;+Gyakankana kubanga yali asunguwadde.+   Omukka gwava mu nnyindo ze,Omuliro ogusaanyaawo gwava mu kamwa ke;+Amanda agamemuka gaava w’ali. 10  Yassa eggulu ng’akka,+Era ekire ekikutte kyali wansi w’ebigere bye.+ 11  Yeebagala kerubi+ n’ajja ng’abuuka mu bbanga. Yalabibwa ng’ali ku biwaawaatiro by’ekitonde eky’omwoyo.*+ 12  Awo ne yeebikka ekizikiza,+Era yali yeetooloddwa ebire ebikutte era ebijjudde amazzi. 13  Mu kwakaayakana okwali mu maaso ge mwali muvaamu amanda agaaka ennyo. 14  Awo Yakuwa n’awuluguma ng’ayima mu ggulu;+Eddoboozi ly’Oyo Asingayo Okuba Waggulu ne liwulirwa.+ 15  Yalasa obusaale bwe+ n’abasaasaanya;Yasindika okumyansa n’abatabulatabula.+ 16  Entobo z’ennyanja zaalabika;+Emisingi gy’ensi gyeyerula olw’okuboggola kwa Yakuwa,Olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyi ndo ze.+ 17  Yayima waggulu n’agolola omukono gwe,N’ankwata n’anzigya mu mazzi amawanvu.+ 18  Yannunula mu mukono gw’omulabe wange ow’amaanyi,+Yannunula mu mukono gw’abo abatanjagala era abaali bansinga amaanyi. 19  Bannumba ku lunaku lwe nnali mu buzibu,+Naye Yakuwa yannyamba. 20  Yantwala mu kifo omutali kabi;*+Yannunula kubanga yali asiima bye nkola.+ 21  Yakuwa ampa empeera okusinziira ku butuukirivu bwange;+Ampa empeera olw’okuba siriiko musango.*+ 22  Kubanga ntambulidde mu makubo ga Yakuwa,Era ekibi eky’okuva ku Katonda wange sikikoze. 23  Amateeka ge gonna+ gali mu maaso gange;Sijja kuva ku biragiro bye.+ 24  Nja kusigala nga siriiko kya kunenyezebwa+ mu maaso ge,Era nja kwewala okwonoona.+ 25  Yakuwa k’ampe empeera olw’okuba ndi mutuukirivu;+Siriiko musango mu maaso ge.+ 26  Eri omwesigwa naawe oba mwesigwa;+Eri oyo ataliiko kya kunenyezebwa, ow’amaanyi, naawe olaga nti toliiko kya kunenyezebwa;+ 27  Eri omulongoofu olaga nti oli mulongoofu,+Naye eri atali mugolokofu olaga nti oli mugezi nnyo.+ 28  Olokola abawombeefu,+Naye ab’amalala obatunuulira bubi era obatoowaza.+ 29  Ggwe ttaala yange, Ai Yakuwa;+Yakuwa y’afuula ekizikiza kyange ekitangaala.+ 30  Bw’onnyamba nsobola okulwanyisa ekibinja ky’abazigu;Olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe.+ 31  Ekkubo lya Katonda ow’amazima lyatuukirira;+Ebigambo bya Yakuwa birongoofu.+ Ngabo eri abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.+ 32  Ani Katonda okuggyako Yakuwa?+ Era ani lwazi okuggyako Katonda waffe?+ 33  Katonda ow’amazima kye kigo kyange ekinywevu,+Era ajja kutereereza ddala ekkubo lyange,+ 34  Ebigere byange abifuula ng’eby’empeewo;Ansobozesa okuyimirira ku bifo ebigulumivu.+ 35  Ayigiriza emikono gyange okulwana entalo;Emikono gyange gisobola okuweta omutego ogw’ekikomo. 36  Ompa engabo yo ey’obulokozi,Era obwetoowaze bwo bunfuula wa kitiibwa.+ 37  Ebigere byange obigaziyiriza ekkubo;Ebigere byange tebijja* kuseerera.+ 38  Nja kuwondera abalabe bange mbasaanyeewo;Sijja kudda okutuusa nga basaanyeewo. 39  Nja kubazikiriza mbabetente baleme okusituka;+Bajja kugwa mbalinnyeko. 40  Ojja kumpa amaanyi nnwane olutalo;+Ojja kuleetera abalabe bange okugwa mu maaso gange.+ 41  Ojja kuleetera abalabe bange okunziruka;*+Abo abankyawa nja kubamalawo.*+ 42  Bawanjaga, naye tewali abataasa;Bakaabirira ne Yakuwa, naye tabaddamu.+ 43  Nja kubasekulasekula bafuuke ng’enfuufu y’ensi;Nja kubabetenta mbalinnyirire ng’ebisooto eby’omu nguudo. 44  Ojja kumponya okwemulugunya kw’abantu bange.+ Ojja kunkuuma nkulembere amawanga;+Eggwanga lye simanyi lijja kumpeereza.+ 45  Abagwira bajja kujja gye ndi nga bakankana;+Bye banaawulira ebinkwatako bijja kubaleetera okuŋŋondera. 46  Abagwira bajja kuggwaamu amaanyi;*Bajja kuva mu bigo byabwe bajje nga bakankana. 47  Yakuwa mulamu! Olwazi lwange+ lutenderezebwe! Katonda wange, olwazi olundokola, agulumizibwe.+ 48  Katonda ow’amazima awoolera eggwanga ku lwange;+Assa amawanga wansi w’obuyinza bwange;+ 49  Annunula mu mukono gw’abalabe bange. Onsitula n’onteeka waggulu+ w’abo abannwanyisa;Omponya omuntu akola eby’obukambwe.+ 50  Kyennaava nkwebaza mu mawanga, Ai Yakuwa,+Era nnaayimbiranga erinnya lyo ennyimba ez’okutendereza:+ 51  Alokola kabaka gwe yalonda;*+Alaga gwe yafukako amafuta okwagala okutajjulukuka,Akulaga Dawudi n’ezzadde lye emirembe gyonna.”+

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Oba, “ye mulokozi wange ow’amaanyi.”
Laba Awanny.
Oba, “ku biwaawaatiro by’embuyaga.”
Oba, “mu kifo ekigazi.”
Obut., “olw’obulongoofu bw’emikono gyange.”
Oba, “Obukongovule bwange tebujja.”
Oba, “Ojja kumpa emigongo gy’abalabe bange.”
Obut., “kubasirisa.”
Oba, “bajja kuggwaawo mpolampola.”
Oba, “Awa kabaka gwe yalonda obuwanguzi obw’amaanyi.”