Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

2 Samwiri 18:1-33

EBIRIMU

  • Abusaalomu awangulwa era n’afa (1-18)

  • Dawudi ategeezebwa ku kufa kwa Abusaalomu (19-33)

18  Awo Dawudi n’abala abasajja abaali naye n’abateekako abaami ab’okukulira enkumi n’ab’okukulira ebikumi.+  Dawudi n’asindika ekimu eky’okusatu eky’abasajja abo nga kikulemberwa Yowaabu,+ ekimu eky’okusatu ekirala nga kikulemberwa Abisaayi+ mutabani wa Zeruyiya,+ era muganda wa Yowaabu, ate ekimu eky’okusatu ekirala nga kikulemberwa Ittayi+ Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti: “Nange nja kugenda nammwe.”  Naye ne bamuddamu nti: “Togenda,+ kubanga bwe tunadduka, ffe tebajja kutufaako;* ekitundu kimu kya kubiri ku ffe ne bwe tufa, tebatufaako, kubanga mu ggwe mulimu ffe abantu 10,000.+ N’olwekyo, kyandibadde kirungi n’osigala mu kibuga n’otuweereza obuyambi ng’osinziira eyo.”  Awo kabaka n’abagamba nti: “Nja kukola kye mulaba nga kye kisinga obulungi.” Kabaka n’ayimirira okumpi n’omulyango gw’ekibuga, abasajja bonna ne bafuluma nga bali mu bibinja eby’ekikumi kikumi, n’olukumi lukumi.  Kabaka n’awa Yowaabu, Abisaayi, ne Ittayi ekiragiro kino: “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate bulungi ku lwange.”+ Abasajja bonna baawulira kabaka ng’awa abaami bonna ekiragiro ekikwata ku Abusaalomu.  Abasajja baagenda ku ttale okulwana ne Isirayiri, era olutalo baalulwanira mu kibira kya Efulayimu.+  Abaweereza ba Dawudi ne bawangulira eyo Abayisirayiri,+ era ku lunaku olwo abantu bangi ne battibwa, abantu 20,000.  Olutalo lwabuna mu kitundu ekyo kyonna, era ku lunaku olwo abantu ekibira be kyatta baali bangi okusinga abo abattibwa n’ekitala.  Abusaalomu yeesanga asisinkanye abaweereza ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu, era ennyumbu yayita wansi w’amatabi g’omuti omunene amaziyivu, omutwe gwe ne guwagamira mu matabi g’omuti ogwo, n’alengejjera mu bbanga,* ennyumbu gye yali yeebagadde yo n’esigala ng’egenda. 10  Ne wabaawo omuntu eyakiraba, n’agamba Yowaabu+ nti: “Ndabye Abusaalomu ng’alengejjera mu matabi g’omuti omunene.” 11  Awo Yowaabu n’agamba omusajja oyo nti: “Bw’oba omulabye, lwaki tomuttiddeewo n’agwa wansi? Kale nnandibadde nkuwa ebitundu kkumi ebya ffeeza n’olukoba.” 12  Naye omusajja n’amuddamu nti: “Ne bwe nnandiweereddwa ebitundu bya ffeeza 1,000, mbadde sisobola kugolola mukono gwange ne ntuusa akabi ku mutabani wa kabaka, kubanga twawulira nga kabaka akulagira ggwe, ne Abisaayi, ne Ittayi nti, ‘Mukakase nti Abusaalomu tatuukibwako kabi konna.’+ 13  Singa saagondedde kabaka ne nzita mutabani we, ekintu ekyo tekyandimukwekeddwa, era naawe tewandimponyezza.” 14  Yowaabu n’agamba nti: “Sijja kumala biseera naawe!” Awo n’akwata obusaale* busatu n’agenda n’abulasa Abusaalomu mu mutima ng’akyali mulamu, ng’alengejjera mu matabi g’omuti omunene. 15  Awo abaweereza ba Yowaabu kkumi abaamusituliranga eby’okulwanyisa ne bajja ne batta Abusaalomu.+ 16  Yowaabu n’afuuwa eŋŋombe, abantu ne balekera awo okuwondera Abayisirayiri ne bakomawo; Yowaabu yabagamba balekere awo. 17  Baatwala Abusaalomu ne bamusuula mu kinnya ekinene ekyali mu kibira, ne bamutuumako entuumu ennene ennyo ey’amayinja.+ Abayisirayiri bonna ne badduka buli omu n’addayo ewuwe. 18  Abusaalomu bwe yali akyali mulamu, yasimba empagi mu Kiwonvu kya Kabaka,+ kubanga yagamba nti: “Sirina mwana wa bulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.”+ Empagi eyo kyeyava agituuma erinnya lye, era eyitibwa Kijjukizo kya Abusaalomu n’okutuusa leero. 19  Awo Akimaazi+ mutabani wa Zadooki n’agamba nti: “Ka nziruke ŋŋende ntegeeze kabaka amawulire gano, kubanga Yakuwa amulaze obwenkanya n’amununula mu mukono gw’abalabe be.”+ 20  Naye Yowaabu n’amugamba nti: “Olwa leero si ggwe ojja okutwala amawulire. Ojja kugatwala lulala, naye olwa leero tojja kugatwala, olw’okuba mutabani wa kabaka afudde.”+ 21  Awo Yowaabu n’agamba Omukuusi+ nti: “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukuusi n’akutamya ku mutwe mu maaso ga Yowaabu, n’adduka. 22  Akimaazi mutabani wa Zadooki n’addamu n’agamba Yowaabu nti: “Ka kibe ki ekinaabaawo, nange ka nziruke ngoberere Omukuusi.” Kyokka Yowaabu n’amugamba nti: “Mwana wange, lwaki naawe oyagala okudduka ogende ng’ate tolina mawulire g’otwala?” 23  Naye era n’agamba nti: “Ka kibe ki ekinaabaawo, ka nziruke ŋŋende.” Yowaabu n’amugamba nti: “Kale dduka ogende!” Akimaazi n’adduka n’agenda ng’ayita mu kkubo eriyita mu kitundu kya Yoludaani, era n’ayisa Omukuusi. 24  Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri egy’ekibuga,+ era omukuumi+ yalinnya waggulu ku mulyango ogw’oku bbugwe n’alengera omusajja ajja adduka yekka. 25  Omukuumi n’akoowoola kabaka n’amutegeeza. Kabaka n’agamba nti: “Bw’aba ali yekka, alina amawulire g’aleese.” Omusajja bwe yagenda yeeyongera okusembera, 26  omukuumi yalengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omukuumi w’oku mulyango n’amugamba nti: “Eriyo omusajja omulala ajja adduka ng’ali yekka!” Kabaka n’agamba nti: “Oyo naye alina amawulire g’aleese.” 27  Omukuumi n’agamba nti: “Enziruka y’omusajja akulembedde eringa eya Akimaazi+ mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’agamba nti: “Oyo musajja mulungi, n’amawulire g’aleese galina okuba nga malungi.” 28  Awo Akimaazi n’akoowoola kabaka n’amugamba nti: “Nnina amawulire amalungi!” Ate era n’avunnamira kabaka, n’agamba nti: “Yakuwa Katonda wo atenderezebwe, awaddeyo eri mukama wange kabaka abasajja abaamujeemera!”*+ 29  Naye kabaka n’amubuuza nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’amuddamu nti: “Nnalabye akakyankalano ak’amaanyi mu kiseera Yowaabu we yatumidde omuweereza wa kabaka n’omuweereza wo, naye saategedde kyabaddewo.”+ 30  Kabaka n’amugamba nti: “Dda ku bbali oyimirire awo.” N’adda ku bbali n’ayimirira. 31  Awo Omukuusi n’atuuka,+ era n’agamba nti: “Mukama wange kabaka akkirize amawulire gano: Olwa leero Yakuwa alaze obwenkanya n’akununula mu mukono gw’abo bonna abaakujeemera.”+ 32  Naye kabaka n’abuuza Omukuusi nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Omukuusi n’amuddamu nti: “Mukama wange kabaka, abalabe bo bonna n’abo bonna abaakujeemera babe ng’omuvubuka oyo.”+ 33  Kabaka n’awulira bubi nnyo, n’agenda mu kisenge ekyali waggulu w’omulyango gw’ekibuga n’akaaba, era yagenda agamba nti: “Abusaalomu omwana wange! Omwana wange! Abusaalomu omwana wange! Kale singa nze nfudde ggwe n’otofa. Abusaalomu omwana wange; omwana wange!”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut.,”kutussaako mutima.”
Obut., “wakati w’eggulu n’ensi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “amafumu.” Obut., “obuuma.”
Obut., “abaamuyimusiza omukono gwabwe.”