Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

2 Bassekabaka 3:1-27

EBIRIMU

  • Yekolaamu, kabaka wa Isirayiri (1-3)

  • Mowaabu ejeemera Isirayiri (4-25)

  • Mowaabu ewangulwa (26, 27)

3  Yekolaamu+ mutabani wa Akabu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era yafugira emyaka 12.  Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, naye teyatuuka ku kigero kya kitaawe oba nnyina, kubanga yaggyawo empagi za Bbaali ezisinzibwa kitaawe ze yali akoze.+  Kyokka yeeyongerera ddala okukola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+ Teyabireka.  Mesa kabaka wa Mowaabu yali mulunzi wa ndiga, era yawanga kabaka wa Isirayiri omusolo gwa ndiga 100,000 ento n’endiga ennume ezitasaliddwako byoya 100,000.  Akabu olwamala okufa,+ kabaka wa Mowaabu n’ajeemera kabaka wa Isirayiri.+  Mu kiseera ekyo Kabaka Yekolaamu yava e Samaliya n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna.  Ate era yatumira Kabaka Yekosafaati owa Yuda n’amugamba nti: “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde. Onoogenda nange okulwanyisa Mowaabu?” N’amuddamu nti: “Nja kugenda+ naawe. Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n’abantu bo, era embalaasi zange ze zizo.”+  N’alyoka amubuuza nti: “Tunaakwata kkubo ki?” N’amuddamu nti: “Ekkubo ery’omu ddungu lya Edomu.”  Awo kabaka wa Isirayiri n’agenda ng’ali ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu.+ Oluvannyuma lw’okutambula ennaku musanvu, tewaali mazzi ga kuwa ggye wadde ag’okuwa ebisolo ebyali bibavaako emabega. 10  Kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Zitusanze! Yakuwa atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu atuweeyo mu mukono gwa Mowaabu.” 11  Yekosafaati n’abuuza nti: “Wano tewali nnabbi wa Yakuwa gwe tuyinza kuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa?”+ Awo omu ku baweereza ba kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Eriyo Erisa+ mutabani wa Safati, eyafukiriranga Eriya amazzi ng’anaaba mu ngalo.”*+ 12  Yekosafaati n’agamba nti: “Yakuwa ayogera ng’ayitira mu oyo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne bagenda gye yali. 13  Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Lwaki ozze gye ndi?*+ Genda weebuuze ku bannabbi ba kitaawo ne bannabbi ba nnyoko.”+ Naye kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti: “Toyogera bw’otyo, kubanga Yakuwa y’atukuŋŋaanyizza ffe bakabaka abasatu atuweeyo mu mukono gwa Mowaabu.” 14  Erisa n’agamba nti: “Nga Yakuwa ow’eggye gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa tabadde Kabaka Yekosafaati+ owa Yuda, sandikutunuddeko wadde okukufaako.+ 15  Naye kaakano mundeetere omukubi w’entongooli.”+ Omukubi w’entongooli olwatandika okugikuba, amaanyi ga Yakuwa ne gajja ku Erisa.+ 16  Erisa n’agamba nti, “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Musime ebinnya mu kiwonvu* kino; 17  kubanga Yakuwa agambye nti: “Temujja kulaba mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu* kino kijja kujjula amazzi,+ munywe mmwe n’ensolo zammwe.”’ 18  Ekyo kintu kitono nnyo mu maaso ga Yakuwa,+ era ajja kuwaayo ne Mowaabu mu mukono gwammwe.+ 19  Mujja kuzikiriza buli kibuga ekiriko bbugwe,+ na buli kibuga ekirabika obulungi, muteme buli muti omulungi, muzibe ensulo zonna ez’amazzi, era mwonoone ebibanja ebirungi nga mubisuulamu amayinja.”+ 20  Awo ku makya, mu kiseera eky’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ amazzi gaatandika okuva ku ludda lwa Edomu, ekiwonvu kyonna ne kijjula amazzi. 21  Abamowaabu bonna bwe baawulira nti bakabaka bazze okubalwanyisa, ne bakunga abasajja bonna abaali basobola okukwata eby’okulwanyisa,* ne bayimirira ku nsalo. 22  Bwe baagolokoka ku makya, enjuba yali eyaka ku mazzi, era Abamowaabu abaali emitala amazzi gaabalabikira ng’omusaayi. 23  Ne bagamba nti: “Ogwo musaayi! Mazima bakabaka battiŋŋanye n’ekitala. Mugende ku munyago+ mmwe Abamowaabu!” 24  Bwe baagenda mu lusiisira lw’Abayisirayiri, Abayisirayiri ne basituka ne batandika okubatta, Abamowaabu ne babadduka.+ Abayisirayiri ne babawondera okutuukira ddala e Mowaabu nga bagenda babatta. 25  Baazikiriza ebibuga, era buli muntu yakasuka ejjinja mu buli kibanja ekirungi, ne kijjula amayinja; baaziba buli nsulo ya mazzi,+ era ne batema buli muti omulungi.+ Bbugwe ow’amayinja ow’ekibuga Kiri-kalesesi+ ye yekka eyasigalawo, era ab’envuumuulo baakyetooloola ne bakizikiriza. 26  Kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumulemeredde, n’atwala abasajja 700 abalwanyisa ebitala bawaguze batuuke eri kabaka wa Edomu,+ naye ne balemererwa. 27  Awo n’addira mutabani we omubereberye eyali ow’okumusikira ku bwakabaka n’amuwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa+ ku bbugwe. Abamowaabu ne basunguwalira nnyo Abayisirayiri, Abayisirayiri ne balekera awo okumulwanyisa ne baddayo mu nsi yaabwe.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “eyali omuweereza wa Eriya.”
Oba, “Tulina kakwate ki ggwe nange?”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Oba, “bonna abaali beesibye emisipi.”