Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

2 Abassessalonika 3:1-18

EBIRIMU

  • Musabenga (1-5)

  • Mwewale abatatambula bulungi (6-15)

  • Okulamusa (16-18)

3  Eky’enkomerero ab’oluganda, mutusabirenga,+ ekigambo kya Yakuwa* kisobole okweyongera okubuna mu bwangu+ era kigulumizibwe, nga bwe kiri gye muli,  era tusobole okuwona abantu ab’omutawaana era ababi,+ kubanga okukkiriza si kwa bonna.+  Naye Mukama waffe mwesigwa, ajja kubanyweza era abakuume okuva eri omubi.  Ate era, tubeesiga mu Mukama waffe nti mukola ebintu bye twabalagira era nti mujja kweyongera okubikola.  Mukama waffe ka yeeyongere okuluŋŋamya emitima gyammwe musobole okwagala Katonda+ era mwoleke obugumiikiriza+ bwa Kristo.  Kaakano ab’oluganda, tubalagira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, okweyawula ku buli wa luganda atatambula bulungi+ era atagoberera ebyo bye* mwafuna* okuva gye tuli.+  Mumanyi engeri gye musaanidde okutukoppamu,+ kubanga tetweyisa bubi nga tuli nammwe,  era tetwalya mmere ya bwereere*+ okuva eri omuntu yenna. Wabula twakolanga nnyo emisana n’ekiro tuleme kubaako n’omu ku mmwe gwe tutikka mugugu gwa kutulabirira.+  Si lwa kuba nti tetulina buyinza,+ naye twakola tutyo tusobole okubateerawo ekyokulabirako nammwe mukole nga ffe.+ 10  Mu butuufu, bwe twali nammwe twabalagiranga nti: “Omuntu yenna atayagala kukola, n’okulya talyanga.”+ 11  Tuwulira nti abamu mu mmwe tebatambula bulungi,+ tebakola mulimu gwonna, naye beeyingiza mu nsonga ezitabakwatako.+ 12  Abantu ng’abo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo okukola emirimu gyabwe nga tebeeyingiza mu nsonga z’abalala, era balye emmere gye bakoleredde.+ 13  Naye mmwe ab’oluganda temulekeranga awo kukola birungi. 14  Singa omuntu yenna tagondera kigambo kyaffe ekiri mu bbaluwa eno, mumusseeko eriiso, era mulekere awo okukolagana naye,+ alyoke akwatibwe ensonyi. 15  Kyokka temumutwalanga ng’omulabe, naye mweyongere okumubuulirira+ ng’ow’oluganda. 16  Kaakano Mukama waffe ow’emirembe abawenga emirembe mu buli kintu.+ Mukama waffe abeere nammwe mmwenna. 17  Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange,+ era ke kabonero aka buli bbaluwa yange; eno ye ngeri gye mpandiikamu. 18  Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere nammwe mmwenna.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “bulagirizi bwe.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “bye baafuna.”
Oba, “nga tetugisasulidde.”