Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

2 Abakkolinso 3:1-18

EBIRIMU

  • Amabaluwa agasemba (1-3)

  • Abaweereza b’endagaano empya (4-6)

  • Endagaano empya y’esinga ekitiibwa (7-18)

3  Twetaaga nate okwesemba ffekka gye muli? Oba okufaananako abantu abamu, naffe twetaaga amabaluwa agatusemba gye muli oba okuva gye muli?  Mmwe mmwennyini mmwe mabaluwa gaffe+ agawandiikiddwa ku mitima gyaffe agamanyiddwa era agasomebwa abantu bonna.  Kyeyolese bulungi nti muli bbaluwa ya Kristo gye twawandiika ffe ng’abaweereza,+ etaawandiikibwa na bwino wabula n’omwoyo gwa Katonda omulamu, era teyawandiikibwa ku bipande eby’amayinja,+ wabula ku mitima.*+  Era okuyitira mu Kristo tulina obwesige nga buno eri Katonda.  Tetukitwala nti ebisaanyizo bye tulina twabifuna ku lwaffe; byava eri Katonda,+  eyatuwa ebisaanyizo eby’okubeera abaweereza ab’endagaano empya,+ si ab’amateeka agali mu buwandiike,+ wabula ab’omwoyo; kubanga amateeka agali mu buwandiike gasalira omuntu omusango ogw’okufa,+ naye omwoyo guwa omuntu obulamu.+  Bwe kiba nti Amateeka agaleeta okufa era agaayolebwa mu nnukuta ku mayinja+ gajjira mu kitiibwa, abaana ba Isirayiri ne baba nga tebasobola kwekaliriza Musa mu maaso olw’ekitiibwa ekyali mu maaso ge,+ ekitiibwa ekyali eky’okuggwaawo,  obuweereza obw’omwoyo+ tebusingawo nnyo okuba obw’ekitiibwa?+  Bwe kiba nti Amateeka agaleetera omuntu okusingibwa omusango+ gaali ga kitiibwa,+ obuweereza obw’obutuukirivu bwa kitiibwa nnyo n’okusingawo.+ 10  Mu butuufu, n’ekyo ekyali eky’ekitiibwa kiggiddwako ekitiibwa olw’ekitiibwa ekikisinga.+ 11  Bwe kiba nti ekyo ekyali eky’okuggibwawo kyaleetebwa mu kitiibwa,+ ekyo eky’okusigalawo ebbanga lyonna kyandibadde n’ekitiibwa ekisingawo.+ 12  Nga bwe tulina essuubi eryo,+ twogerera ddala n’obuvumu, 13  era tetukola nga Musa, eyeebikkanga ekitambaala mu maaso,+ abaana ba Isirayiri baleme okwekaliriza enkomerero y’ekyo ekyali eky’okuggibwawo. 14  Naye obusobozi bwabwe obw’okulowooza bwaddirira.+ Kubanga n’okutuusa leero ekibikka kye kimu kibabeerako ng’endagaano enkadde esomebwa,+ kubanga kiggibwawo okuyitira mu Kristo.+ 15  Mu butuufu, n’okutuusa leero, buli ebitabo bya Musa lwe bisomebwa,+ ekibikka kibeera ku mitima gyabwe.+ 16  Naye bwe wabaawo adda eri Yakuwa* ekibikka kiggibwawo.+ 17  Yakuwa* gwe Mwoyo,+ era omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.+ 18  Era ffe ffenna abatabikkiddwa ku maaso twoleka ekitiibwa kya Yakuwa* ng’endabirwamu, era tukyusibwa mu kifaananyi kye kimu okuva mu kitiibwa ekimu okudda mu kirala, nga Yakuwa* Omwoyo bw’akolera ddala.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ku bipande eby’omubiri, ku mitima.”