Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:1-20

EBIRIMU

  • Yekolaamu, kabaka wa Yuda (1-11)

  • Eriya aweereza obubaka mu bbaluwa (12-15)

  • Yekolaamu afa bubi (16-20)

21  Awo Yekosafaati n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+  Yalina baganda be bano batabani ba Yekosafaati: Azaliya, Yekyeri, Zekkaliya, Azaliya, Mikayiri, ne Sefatiya. Abo bonna baali batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isirayiri.  Kitaabwe yabawa ebirabo bingi: ffeeza, zzaabu, n’ebintu eby’omuwendo awamu n’ebibuga mu Yuda ebyaliko bbugwe;+ naye obwakabaka yabuwa Yekolaamu+ kubanga ye yali omwana omubereberye.  Yekolaamu bwe yamala okukkalira ku ntebe y’obwakabaka bwa kitaawe, ne yeenyweza ng’atta n’ekitala baganda be bonna+ n’abamu ku baami ba Isirayiri.  Yekolaamu yalina emyaka 32 we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.+  Yatambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri+ ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, olw’okuba yali awasizza muwala wa Akabu,+ era yakolanga ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa.  Naye Yakuwa teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi, olw’endagaano gye yakola ne Dawudi,+ okuva bwe kiri nti yali asuubizza nti ye n’abaana be bandibaddenga n’ettaala eyaka bulijjo.+  Mu kiseera kya Yekolaamu, Edomu yajeemera Yuda+ ne yeeteerawo kabaka waayo.+  Awo Yekolaamu n’abakulu b’amagye ge ne basala ensalo n’amagaali ge gonna. Bwe bwatuuka ekiro n’asituka n’alwanyisa Abeedomu abaali bamuzingizza era nga bazingizza n’abakulu b’amagaali, n’abawangula. 10  Naye Edomu yeeyongera okujeemera Yuda n’okutuusa leero. Era mu kiseera ekyo Libuna+ nayo yajeemera Yekolaamu olw’okuba yali alese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabe.+ 11  Era yazimba ebifo ebigulumivu+ ku nsozi ez’omu Yuda, aleetere abantu b’omu Yerusaalemi okwenda mu by’omwoyo, era yawabya Yuda. 12  Awo n’afuna ebbaluwa okuva eri nnabbi Eriya+ ng’egamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Dawudi jjajjaawo bw’agamba, ‘Totambulidde mu makubo ga Yekosafaati+ kitaawo oba aga Asa+ kabaka wa Yuda. 13  Naye otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri+ n’oleetera Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi okwenda mu by’omwoyo+ ng’ennyumba ya Akabu bw’eyenda,+ era watta ne baganda bo,+ ab’ennyumba ya kitaawo abaali abalungi okukusinga. 14  N’olwekyo Yakuwa agenda kuleeta akabi ku bantu bo, ku baana bo, ku bakazi bo, ne ku bintu byo byonna. 15  Ojja kufuna endwadde nnyingi, nga mwe muli n’obulwadde bw’omu byenda, okutuusa ebyenda byo lwe birifuluma olw’obulwadde obunaakulumanga buli lunaku.’” 16  Awo Yakuwa n’ateeka mu Bafirisuuti*+ ne mu Bawalabu+ abaali baliraanye Abeesiyopiya omwoyo ogw’okulwanyisa+ Yekolaamu. 17  Ne balumba Yuda ne bayingira n’eryanyi, era baatwala ebintu byonna ebyali mu nnyumba* ya kabaka,+ awamu n’abaana be ne bakazi be; omwana yekka gwe baamulekera yali Yekoyakazi,*+ eyali asembayo obuto. 18  Ebyo bwe byaggwa, Yakuwa n’amulwaza obulwadde mu byenda obwali butasobola kuwona.+ 19  Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, ebyenda bye byafuluma olw’obulwadde obwali bumuluma, era n’afa ng’alumizibwa nnyo olw’obulwadde obwo. Abantu be tebaamukumira muliro okulaga nti bamuwa ekitiibwa nga bwe baagukumira bajjajjaabe.+ 20  Yatandika okufuga ng’alina emyaka 32, era yafugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Bwe yafa tewali n’omu gwe kyaluma. Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi,+ naye tebaamuziika gye baazikanga bakabaka.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “n’asiikuula omwoyo gw’Abafirisuuti.”
Oba, “lubiri.”
Era ayitibwa Akaziya.