Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 1:1-17

EBIRIMU

  • Sulemaani asaba okuweebwa amagezi (1-12)

  • Obugagga bwa Sulemaani (13-17)

1  Sulemaani mutabani wa Dawudi ne yeeyongera okufuna amaanyi mu bufuzi bwe. Yakuwa Katonda we yali naye era yamufuula wa kitiibwa nnyo.+  Awo Sulemaani n’atumya Abayisirayiri bonna, abaali bakulira enkumi n’abakulira ebikumi n’abalamuzi n’abaami bonna ab’omu Isirayiri yonna, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe.  Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda mu kifo ekigulumivu eky’e Gibiyoni,+ kubanga eyo we waali weema ey’okusisinkaniramu eya Katonda ow’amazima, Musa omuweereza wa Yakuwa gye yakolera mu ddungu.  Naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima Dawudi yali agiggye e Kiriyasu-yalimu+ n’agireeta mu kifo kye yali agiteekeddeteekedde; yali agisimbidde weema mu Yerusaalemi.+  Ate ekyoto eky’ekikomo+ Bezaleeri+ mutabani wa Wuli mutabani wa Kuli kye yakola kyali kiteekeddwa mu maaso ga weema ya Yakuwa entukuvu; era Sulemaani n’ekibiina baasabiranga mu maaso gaakyo.*  Awo Sulemaani n’aweerayo eyo ebiweebwayo mu maaso ga Yakuwa; yawaayo ebiweebwayo ebyokebwa 1,000 ku kyoto eky’ekikomo+ eky’oku weema ey’okusisinkaniramu.  Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti: “Saba ky’oyagala nkuwe.”+  Sulemaani n’agamba Katonda nti: “Walaga kitange Dawudi+ okwagala okutajjulukuka kungi, era onfudde kabaka mu kifo kye.+  Kaakano Ai Yakuwa Katonda, tuukiriza kye wasuubiza kitange Dawudi,+ kubanga onfudde kabaka w’abantu abangi ennyo ng’enfuufu y’ensi.+ 10  Nkusaba ompe amagezi n’okumanya+ nsobole okukulembera abantu bano;* kubanga ani ayinza okulamula eggwanga lyo lino eddene?”+ 11  Awo Katonda n’agamba Sulemaani nti: “Olw’okuba kino omutima gwo kye gwagala, era tosabye bintu oba obugagga oba ekitiibwa oba okufa kw’abo abatakwagala oba obuwangaazi,* naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okulamula abantu bange be nkuwadde okufuga nga kabaka,+ 12  amagezi n’okumanya bijja kukuweebwa; era nja kukuwa n’ebintu n’obugagga n’ekitiibwa bakabaka abaakusookawo bye bataafuna era n’abo abalikuddirira bye batalifuna.”+ 13  Awo Sulemaani n’ava e Gibiyoni mu kifo ekigulumivu,+ mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu, n’agenda e Yerusaalemi n’afuga Isirayiri. 14  Sulemaani ne yeekuŋŋaanyiza amagaali n’embalaasi;* yalina amagaali 1,400 n’embalaasi* 12,000,+ era yabiteeka mu bibuga omwaterekebwanga amagaali+ ne mu Yerusaalemi okumpi ne kabaka.+ 15  Ffeeza ne zzaabu kabaka bye yalina mu Yerusaalemi byali bingi nnyo ng’amayinja,+ n’embaawo z’entolokyo ze yalina zaali nnyingi nnyo ng’emiti gy’emisukamooli egiri mu Sefera.+ 16  Embalaasi za Sulemaani zaggibwanga Misiri,+ era abasuubuzi ba kabaka baagulanga magana.*+ 17  Eggaali limu baaligulanga e Misiri ebitundu bya ffeeza 600, ate embalaasi emu baagigulanga ebitundu bya ffeeza 150; oluvannyuma baabiguzanga bakabaka bonna ab’Abakiiti n’aba Busuuli.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “baamwebuuzangako nga bayima awo.”
Obut., “nfulumenga era nnyingirenga mu maaso g’abantu bano.”
Obut., “ennaku ennyingi.”
Oba, “n’abeebagazi b’embalaasi.”
Oba, “n’abeebagazi b’embalaasi.”
Laba obugambo obuli wansi ku 1Sk 10:28.