Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

1 Yokaana 5:1-21

EBIRIMU

  • Okukkiririza mu Yesu kutusobozesa okuwangula ensi (1-12)

    • Okwagala Katonda kye kitegeeza (3)

  • Obwesige bwe tulina mu kusaba (13-17)

  • Mubeere bulindaala mu nsi embi (18-21)

    • Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi (19)

5  Buli muntu akkiriza nti Yesu ye Kristo aba yazaalibwa Katonda,+ era buli muntu ayagala Katonda aba ayagala n’abaana ba Katonda.  Bwe tuba nga twagala Katonda era nga tukwata ebiragiro bye, ku ekyo kwe tumanyira nti twagala abaana ba Katonda.+  Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye;+ era ebiragiro bye tebizitowa,+  kubanga buli azaalibwa* Katonda awangula ensi.+ Era okukkiriza kwaffe kwe kutusobozesezza okuwangula ensi.+  Ani asobola okuwangula ensi?+ Si y’oyo akkiriza nti Yesu ye Mwana wa Katonda?+  Yesu Kristo oyo ye yajja ng’ayitira mu mazzi ne mu musaayi, si na mazzi gokka,+ wabula n’amazzi n’omusaayi.+ Era omwoyo guwa obujulirwa,+ kubanga omwoyo ge mazima.  Waliwo abawa obujulirwa basatu:  omwoyo,+ amazzi,+ n’omusaayi;+ era abasatu abo bassa kimu.  Bwe tuba nga tukkiriza obujulirwa abantu bwe bawa, obujulirwa Katonda bw’awa twandibadde tubukkiriza nnyo n’okusingawo, kubanga obujulirwa Katonda bw’awa bukwata ku Mwana we. 10  Omuntu akkiririza mu Mwana wa Katonda aba n’obujulirwa munda mu ye. Omuntu atakkiririza mu Katonda aba amufudde mulimba,+ kubanga aba takkiririza mu bujulirwa Katonda bw’awadde ku Mwana we. 11  Era obujulirwa obuweereddwa bwe buno, nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo+ era obulamu buno buli mu Mwana we.+ 12  Oyo akkiriza Omwana aba n’obulamu buno; oyo atakkiriza Mwana wa Katonda taba na bulamu buno.+ 13  Mbawandiikira ebintu bino musobole okumanya nti mmwe abakkiririza mu linnya lw’Omwana wa Katonda+ mulina obulamu obutaggwaawo.+ 14  Era buno bwe bwesige bwe tulina mu ye,+ nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.+ 15  Ate era, bwe tumanya nti awulira buli kye tusaba, tumanya nti tujja kufuna bye tusabye kubanga tuba tubisabye ye.+ 16  Singa omuntu yenna alaba muganda we ng’akola ekibi ekitaleeta kufa, amusabirenga, era Katonda ajja kumuwa obulamu.+ Kino kikwata ku abo abakola ekibi ekitaleeta kufa. Naye waliwo ekibi ekireeta okufa.+ Simugamba kusabira muntu akola ekibi ng’ekyo. 17  Obutali butuukirivu bwonna buba kibi;+ naye waliwo ekibi ekitaleeta kufa. 18  Tumanyi nti buli muntu azaalibwa Katonda tatambulira mu kibi, era oyo azaalibwa Katonda* amukuuma, era omubi tamukwatako.*+ 19  Tumanyi nti tuli ba Katonda, naye ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.+ 20  Tumanyi nti Omwana wa Katonda yajja,+ era yatuwa okutegeera tusobole okumanya oyo ow’amazima. Era okuyitira mu Mwana we Yesu Kristo, tuli bumu n’ow’amazima. Oyo ye Katonda ow’amazima era ensibuko y’obulamu obutaggwaawo.+ 21  Abaana abato, mwekuume ebifaananyi.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “buli ekizaalibwa.”
Kwe kugamba, Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
Oba, “tamwenywezaako.”