Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

1 Samwiri 7:1-17

EBIRIMU

  • Essanduuko mu Kiriyasu-yalimu (1)

  • Samwiri abakubiriza nti: ‘Muweereze Yakuwa yekka’ (2-6)

  • Isirayiri ewangula Abafirisuuti e Mizupa (7-14)

  • Samwiri alamula Isirayiri (15-17)

7  Awo abantu b’e Kiriyasu-yalimu ne bagenda ne batwala Essanduuko ya Yakuwa mu nnyumba ya Abinadaabu+ eyali ku kasozi, era ne balonda* Eriyazaali mutabani we okukuuma Essanduuko ya Yakuwa.  Okuva ku lunaku Essanduuko lwe yatwalibwa e Kiriyasu-yalimu, waayitawo ekiseera kiwanvu, ne giwerera ddala emyaka 20, era ennyumba ya Isirayiri yonna yatandika okunoonya* Yakuwa.+  Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti: “Bwe muba nga mukomawo eri Yakuwa n’omutima gwammwe gwonna,+ muggye mu mmwe bakatonda abalala+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi,+ mumalire emitima gyammwe ku Yakuwa era muweereze ye yekka,+ naye ajja kubanunula mu mukono gw’Abafirisuuti.”+  Awo Abayisirayiri ne beggyako ebifaananyi bya Babbaali n’ebya Asutoleesi ne baweereza Yakuwa yekka.+  Awo Samwiri n’agamba nti: “Mukuŋŋaanyize Abayisirayiri bonna e Mizupa,+ mbasabire eri Yakuwa.”+  Ne bakuŋŋaanira e Mizupa, ne basena amazzi ne bagayiwa mu maaso ga Yakuwa ne basiiba ku lunaku olwo.+ Ne boogerera eyo nti: “Twonoonye mu maaso ga Yakuwa.”+ Awo Samwiri n’atandika okulamula+ Abayisirayiri e Mizupa.  Abafirisuuti bwe baawulira nti Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti+ ne bagenda okulwanyisa Isirayiri. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya olw’Abafirisuuti.  Abayisirayiri ne bagamba Samwiri nti: “Tolekera awo kukoowoola Yakuwa Katonda waffe kutuyamba+ na kutununula mu mukono gw’Abafirisuuti.”  Awo Samwiri n’addira endiga ento eyonka n’agiwaayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekyokebwa;+ Samwiri n’akoowoola Yakuwa ayambe Isirayiri, era Yakuwa n’amwanukula.+ 10  Samwiri bwe yali awaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Abafirisuuti ne bajja okulwana ne Isirayiri. Yakuwa n’aleetera eggulu okubwatukira+ Abafirisuuti ku lunaku olwo, n’abaleetera okukyankalana,+ Abayisirayiri ne babawangula.+ 11  Awo abasajja ba Isirayiri ne bava e Mizupa ne bawondera Abafirisuuti ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ebukiikaddyo wa Besu-kali. 12  Samwiri n’addira ejjinja+ n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Yesana n’alituuma Ebenezeri,* kubanga yagamba nti: “Yakuwa atuyambye+ okutuusa kaakano.” 13  Bwe batyo Abafirisuuti ne bawangulwa, era tebaddamu kulumba nsi ya Isirayiri;+ omukono gwa Yakuwa gweyongera okuba ku Bafirisuuti ennaku za Samwiri zonna.+ 14  N’ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali bawambye ku Isirayiri, byaddizibwa Isirayiri, okuva e Ekulooni okutuuka e Gaasi, era Isirayiri yanunula n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga ebyo okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ate era waaliwo emirembe wakati wa Isirayiri n’Abaamoli.+ 15  Samwiri yalamula Isirayiri obulamu bwe bwonna.+ 16  Buli mwaka yagendanga e Beseri,+ e Girugaali,+ n’e Mizupa,+ era yalamuliranga Isirayiri mu bifo ebyo byonna. 17  Naye yaddangayo e Laama,+ kubanga eyo we waali ennyumba ye, era nayo yalamulirangayo Abayisirayiri. Yazimbirayo Yakuwa ekyoto.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ne batukuza.”
Oba, “okukungubagira.”
Litegeeza, “Ejjinja ery’Obuyambi.”