Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

1 Samwiri 29:1-11

EBIRIMU

  • Abafirisuuti beekengera Dawudi (1-11)

29  Abafirisuuti+ baakuŋŋaanyiza amagye gaabwe gonna mu Afeki, ng’Abayisirayiri basiisidde okumpi n’oluzzi mu Yezuleeri.+  Abafuzi b’Abafirisuuti baali bayitawo n’abasirikale baabwe nga bali mu bibinja eby’ekikumi ekikumi n’olukumi olukumi, era Dawudi n’abasajja be baali mabega ne Akisi.+  Naye abaami b’Abafirisuuti ne bagamba nti: “Abebbulaniya bano bakola ki wano?” Akisi n’addamu abaami b’Abafirisuuti nti: “Ono ye Dawudi omuweereza wa Sawulo kabaka wa Isirayiri, abadde nange okumala omwaka gumu n’okusingawo.+ Sirina kibi kyonna kye nnali mmulabyemu okuva ku lunaku lwe yaddukira gye ndi n’okutuusa leero?”  Naye abaami b’Abafirisuuti ne bamusunguwalira, ne bamugamba nti: “Gamba omusajja oyo addeyo+ mu kitundu kye wamuwa. Tomukkiriza kugenda naffe mu lutalo, aleme kutwefuulira nga tuli mu lutalo.+ Omusajja oyo anaakola ki okusobola okuganja eri mukama we? Ekinaamuleetera okuganja si kwe kutta abasajja baffe?  Oyo si ye Dawudi gwe baayimbira nga bwe bazina, nga bagamba nti: ‘Sawulo asse enkumi,Ne Dawudi asse emitwalo’?”+  Awo Akisi+ n’ayita Dawudi n’amugamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, oli mwesimbu, era mbadde njagala ogende nange mu lutalo n’eggye lyange,+ kubanga sikulabangamu kibi kyonna okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi okutuusa leero.+ Naye abaami b’Abafirisuuti tebakwesiga.+  Kale ddayo mirembe, era tokola kintu kyonna kunyiiza bafuzi b’Abafirisuuti.”  Kyokka, Dawudi n’agamba Akisi nti: “Naye lwaki, nkoze ki? Kibi ki ky’olabye mu muweereza wo okuva ku lunaku lwe nnajja gy’oli okutuusa leero? Lwaki sigenda naawe ne nnwanyisa abalabe ba mukama wange kabaka?”  Awo Akisi n’addamu Dawudi nti: “Gye ndi obadde mulungi, ng’olinga malayika wa Katonda.+ Naye abaami b’Abafirisuuti baŋŋambye nti, ‘Tomukkiriza kugenda naffe mu lutalo.’ 10  Kale keera ku makya awamu n’abaweereza ba mukama wo abajja naawe; mugolokoke mugende ku makya nga bwakatangaala.” 11  Awo Dawudi n’abasajja be ne bagolokoka ku makya ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti, ate bo Abafirisuuti ne bagenda e Yezuleeri.+

Obugambo Obuli Wansi