Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

1 Ebyomumirembe Ekisooka 3:1-24

EBIRIMU

  • Abaana ba Dawudi (1-9)

  • Bakabaka ab’omu lunyiriri lwa Dawudi (10-24)

3  Bano be baana ba Dawudi ab’obulenzi abaamuzaalirwa mu Kebbulooni:+ omubereberye yali Amunoni+ era nnyina ye yali Akinowamu+ ow’e Yezuleeri; ow’okubiri yali Danyeri era nnyina ye yali Abbigayiri+ Omukalumeeri;  ow’okusatu yali Abusaalomu+ mutabani wa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka wa Gesuli; ow’okuna yali Adoniya+ mutabani wa Kaggisi;  ow’okutaano yali Sefatiya era nnyina ye yali Abitali; ow’omukaaga yali Isuleyamu era nnyina ye yali Egula mukazi wa Dawudi.  Abaana abaamuzaalirwa mu Kebbulooni baali mukaaga; eyo yafugirayo emyaka 7 n’emyezi 6, ate mu Yerusaalemi n’afugirayo emyaka 33.+  Bano be yazaalira mu Yerusaalemi:+ Simeeya, Sobabu, Nasani,+ ne Sulemaani;+ abana abo baali ba Basu-seba+ muwala wa Ammiyeri.  Ate abalala omwenda be bano: Ibukali ne Erisaama ne Erifereti  ne Noga ne Nefegi ne Yafiya  ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti.  Abo bonna be baana ba Dawudi nga totaddeeko baana ba bazaana, era mwannyinaabwe yali ayitibwa Tamali.+ 10  Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu,+ Lekobowaamu yazaala Abiya,+ Abiya n’azaala Asa,+ Asa n’azaala Yekosafaati,+ 11  Yekosafaati n’azaala Yekolaamu,+ Yekolaamu n’azaala Akaziya,+ Akaziya n’azaala Yekowaasi,+ 12  Yekowaasi n’azaala Amaziya,+ Amaziya n’azaala Azaliya,+ Azaliya n’azaala Yosamu,+ 13  Yosamu n’azaala Akazi,+ Akazi n’azaala Keezeekiya,+ Keezeekiya n’azaala Manase,+ 14  Manase n’azaala Amoni,+ Amoni n’azaala Yosiya.+ 15  Abaana ba Yosiya be bano: omubereberye Yokanani, ow’okubiri Yekoyakimu,+ ow’okusatu Zeddeekiya,+ ow’okuna Salumu. 16  Omwana* wa Yekoyakimu yali Yekoniya.+ Yekoniya yazaala Zeddeekiya. 17  Abaana Yekoniya be yazaala nga musibe be bano: Seyalutyeri, 18  Malukiramu, Pedaya, Senazzali, Yekamiya, Kosama, ne Nedabiya. 19  Abaana ba Pedaya be bano: Zerubbaberi+ ne Simeeyi. Abaana ba Zerubbaberi be bano: Mesulamu ne Kananiya (ne Seromisi mwannyinaabwe); 20  ate abataano abalala be bano: Kasuba, Okeri, Berekiya, Kasadiya ne Yusabu-kesedi. 21  Abaana ba Kananiya be bano: Peratiya ne Yesukaya. Omwana* wa Yesukaya yali Lefaya. Omwana* wa Lefaya yali Alunani. Omwana* wa Alunani yali Obadiya. Omwana* wa Obadiya yali Sekaniya. 22  Abaana ba Sekaniya be bano: Semaaya n’abaana be (Kattusi, Igali, Baliya, Neyaliya, ne Safati)—bonna awamu baali abaana mukaaga. 23  Abaana ba Neyaliya be bano: Eriwenayi, Kizukiya, ne Azulikamu; baali basatu. 24  Abaana ba Eriwenayi be bano: Kodaviya, Eriyasibu, Peraya, Akkubu, Yokanani, Deraya, ne Anani; baali musanvu.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Abaana.”
Obut., “Abaana.”
Obut., “Abaana.”
Obut., “Abaana.”
Obut., “Abaana.”