Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

1 Ebyomumirembe Ekisooka 1:1-54

EBIRIMU

  • Okuva ku Adamu okutuuka ku Ibulayimu (1-27)

  • Abaana ba Ibulayimu (28-37)

  • Abeedomu ne bakabaka baabwe n’abaami baabwe (38-54)

1  Adamu,Seezi,+ Enosi,  Kenani,Makalaleeri,+Yaledi,+  Enoka,+Mesuseera,Lameka,+  Nuuwa,+Seemu,+ Kaamu, ne Yafeesi.+  Abaana ba Yafeesi be bano: Gomeri, Magoogi, Madayi, Yavani, Tubali,+ Meseki,+ ne Tirasi.+  Abaana ba Gomeri be bano: Asukenaazi, Lifasi, ne Togaluma.+  Abaana ba Yavani be bano: Erisa, Talusiisi, Kittimu, ne Lodanimu.  Abaana ba Kaamu be bano: Kuusi,+ Mizulayimu, Puti, ne Kanani.+  Abaana ba Kuusi be bano: Seeba,+ Kavira, Sabuta, Laama,+ ne Sabuteka. Abaana ba Laama be bano: Seba ne Dedani.+ 10  Kuusi yazaala Nimuloodi.+ Ono ye yasooka okuba ow’amaanyi ku nsi. 11  Mizulayimu yazaala Ludimu,+ Anamimu, Lekabimu, Nafutukimu,+ 12  Pasulusimu,+ Kasulukimu (mu ono mwe mwasibuka Abafirisuuti),+ ne Kafutolimu.+ 13  Kanani yazaala Sidoni+ omwana we omubereberye, ne Keesi,+ 14  n’Abayebusi,+ n’Abaamoli,+ n’Abagirugaasi,+ 15  n’Abakiivi,+ n’Abaaluki, n’Abasiini, 16  n’Abaluvadi,+ n’Abazemali, n’Abakamasi. 17  Abaana ba Seemu be bano: Eramu,+ Asuli,+ Alupakusaadi, Ludi, Alamu,ne* Uzzi, Kuuli, Geseri, ne Masi.+ 18  Alupakusaadi yazaala Seera,+ Seera n’azaala Eberi. 19  Eberi yazaala abaana babiri ab’obulenzi. Omu yali ayitibwa Peregi,*+ kubanga mu kiseera kye ensi yayawulibwamu.* Muganda we yali ayitibwa Yokutaani. 20  Yokutaani yazaala Alumodaadi, Serefu, Kazalumavesi, Yera,+ 21  Kadolaamu, Uzali, Dikula, 22  Obali, Abimayeeri, Seba, 23  Ofiri,+ Kavira,+ ne Yobabu. Abo bonna baali baana ba Yokutaani. 24  Seemu,Alupakusaadi,Seera, 25  Eberi,Peregi,+Leewu,+ 26  Serugi,+Nakoli,+Teera,+ 27  Ibulaamu, kwe kugamba, Ibulayimu.+ 28  Abaana ba Ibulayimu be bano: Isaaka+ ne Isimayiri.+ 29  Bano be baana baabwe: omwana wa Isimayiri omubereberye yali ayitibwa Nebayoosi,+ n’addirirwa Kedali+ ne Adubeeri ne Mibusamu+ 30  ne Misuma ne Duma ne Massa ne Kadadi ne Tema 31  ne Yetuli ne Nafisi ne Kedema. Abo be baana ba Isimayiri. 32  Abaana Ketula+ omuzaana wa Ibulayimu be yazaala be bano: Zimulaani, Yokusaani, Medani, Midiyaani,+ Isubaki, ne Suwa.+ Abaana ba Yokusaani be bano: Seba ne Dedani.+ 33  Abaana ba Midiyaani be bano: Efa,+ Eferi, Kanoki, Abida, ne Eruda. Abo bonna be baana ba Ketula. 34  Ibulayimu yazaala Isaaka.+ Abaana ba Isaaka be bano: Esawu+ ne Isirayiri.+ 35  Abaana ba Esawu be bano: Erifaazi, Leweri, Yewusi, Yalamu, ne Koola.+ 36  Abaana ba Erifaazi be bano: Temani,+ Omali, Zeefo, Gatamu, Kenazi, Timuna, ne Amaleki.+ 37  Abaana ba Leweri be bano: Nakasi, Zeera, Samma ne Mizza.+ 38  Abaana ba Seyiri+ be bano: Lotani, Sobali, Zibyoni, Ana, Disoni, Ezeri, ne Disani.+ 39  Abaana ba Lotani be bano: Koli ne Komamu. Mwannyina wa Lotani yali ayitibwa Timuna.+ 40  Abaana ba Sobali be bano: Aluvani, Manakasi, Ebali, Seefo, ne Onamu. Abaana ba Zibyoni be bano: Aya ne Ana.+ 41  Omwana* wa Ana yali Disoni. Abaana ba Disoni be bano: Kemudaani, Esubani, Isulani, ne Kerani.+ 42  Abaana ba Ezeri+ be bano: Birukani, Zaavani, ne Akani. Abaana ba Disani be bano: Uzzi ne Alani.+ 43  Bano be bakabaka abaafuga mu nsi ya Edomu+ nga tewannabaawo kabaka yenna afuga Abayisirayiri:*+ Bera mutabani wa Byoli, era ekibuga kye kyali kiyitibwa Dinukaba. 44  Bera bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula+ n’amusikira ku bwakabaka. 45  Yobabu bwe yafa, Kusamu ow’omu nsi y’Abatemani n’amusikira ku bwakabaka. 46  Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu n’amusikira ku bwakabaka. Ekibuga kye kyali kiyitibwa Avisi. 47  Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’amusikira ku bwakabaka. 48  Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’Omugga* n’amusikira ku bwakabaka. 49  Sawuli bwe yafa, Bbaali-kanani mutabani wa Akubooli n’amusikira ku bwakabaka. 50  Bbaali-kanani bwe yafa, Kadadi n’amusikira ku bwakabaka. Ekibuga kye kyali kiyitibwa Pawu, ate mukazi we yali ayitibwa Meketaberi muwala wa Matuledi muwala wa Mezakabu. 51  Oluvannyuma Kadadi yafa. Bano be baali abaami* b’omu Edomu: Omwami Timuna, Omwami Aluva, Omwami Yesesi,+ 52  Omwami Okolibama, Omwami Ela, Omwami Pinoni, 53  Omwami Kenazi, Omwami Temani, Omwami Mibuzali, 54  Omwami Magudyeri, n’Omwami Iramu. Abo be baali abaami b’omu Edomu.

Obugambo Obuli Wansi

Bano abaddako baana ba Alamu. Laba Lub 10:23.
Litegeeza, “Okwawulamu.”
Oba, “abantu abaali ku nsi baayawulibwamu.”
Obut., “Abaana.”
Obut., “abaana ba Isirayiri.”
Omugga Fulaati.
Omwami yabanga mukulu wa kika.