Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

1 Bassekabaka 22:1-53

EBIRIMU

  • Yekosafaati akolagana ne Akabu (1-12)

  • Mikaaya alagula nti Akabu ajja okuwangulwa (13-28)

    • Malayika alimba Akabu (21, 22)

  • Akabu attibwa e Lamosu-gireyaadi (29-40)

  • Yekosafaati afuga Yuda (41-50)

  • Akaziya kabaka wa Isirayiri (51-53)

22  Okumala emyaka esatu tewaaliwo lutalo wakati wa Busuuli ne Isirayiri.  Mu mwaka ogw’okusatu Kabaka Yekosafaati+ owa Yuda yagenda eri kabaka wa Isirayiri.+  Kabaka wa Isirayiri n’agamba abaweereza be nti: “Mukimanyi nti Lamosi-gireyaadi+ kyaffe, naye ng’ate tulonzalonza okukiggya ku kabaka wa Busuuli?”  Awo n’abuuza Yekosafaati nti: “Onoogenda nange okulwana e Lamosi-gireyaadi?” Yekosafaati n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n’abantu bo, era embalaasi zange ze zizo.”+  Kyokka Yekosafaati n’agamba kabaka wa Isirayiri nti: “Naye sooka weebuuze ku+ Yakuwa olabe ky’agamba.”+  Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi nga 400, n’ababuuza nti: “Ŋŋende nnwanyise Lamosi-gireyaadi, oba sigenda?” Ne bamugamba nti: “Genda, era Yakuwa ajja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka.”  Yekosafaati n’agamba nti: “Wano tewaliiwo nnabbi wa Yakuwa? Ka twebuuze okuyitira mu ye.”+  Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti: “Waliwo omusajja omulala omu gwe tusobola okuyitiramu okwebuuza ku Yakuwa,+ naye nze simwagala,+ kubanga tandagulako birungi wabula bibi byokka.+ Ye Mikaaya mutabani wa Imula.” Kyokka Yekosafaati n’amugamba nti: “Kabaka tasaanidde kwogera kintu ng’ekyo.”  Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita omukungu omu ow’omu lubiri n’amugamba nti: “Leeta mangu Mikaaya mutabani wa Imula.”+ 10  Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda baali batudde buli omu ku ntebe ye ey’obwakabaka nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka, era baali ku gguuliro ku mulyango oguyingira mu Samaliya, nga bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe.+ 11  Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag’ekyuma n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Gano g’ojja okutomeza* Abasuuli okutuusa lw’onoobamalawo.’” 12  Bannabbi abalala bonna ne balagula kye kimu nga bagamba nti: “Genda e Lamosi-gireyaadi era ojja kuwangula; Yakuwa ajja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka.” 13  Omubaka eyagenda okuyita Mikaaya yamugamba nti: “Laba! Ebigambo byonna bannabbi bye bagambye kabaka birungi; naawe ebigambo byo ka bibeere ng’ebyabwe; yogera birungi.”+ 14  Naye Mikaaya n’addamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, Yakuwa ky’anaŋŋamba kye nja okwogera.” 15  Awo n’ajja eri kabaka, kabaka n’amubuuza nti: “Mikaaya, tugende e Lamosi-gireyaadi tukirwanyise, oba tetugenda?” N’amuddamu nti: “Genda ojja kuwangula, era Yakuwa ajja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka.” 16  Awo kabaka n’amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka obutambuulira kintu kirala kyonna mu linnya lya Yakuwa okuggyako amazima?” 17  Awo n’agamba nti: “Ndaba Abayisirayiri bonna nga basaasaanye ku nsozi+ nga balinga endiga ezitalina musumba; era Yakuwa agambye nti: ‘Bano tebalina mukama waabwe. Ka buli omu addeyo mu nnyumba ye mirembe.’” 18  Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti: “Saakugambye nti, ‘Tajja kundagulako birungi, wabula bibi byereere’?”+ 19  Mikaaya n’agamba nti: “Kale wulira ekigambo kya Yakuwa: Nnalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye,+ ng’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo n’ogwa kkono.+ 20  Awo Yakuwa n’agamba nti: ‘Ani anaalimbalimba Akabu agende afiire e Lamosi-gireyaadi?’ Omu n’agamba kino ate omulala n’agamba kiri. 21  Awo malayika*+ omu n’avaayo n’ayimirira mu maaso ga Yakuwa n’amugamba nti, ‘Nze nja kumulimbalimba.’ Yakuwa n’amubuuza nti, ‘Onookikola otya?’ 22  Awo n’amugamba nti, ‘Nja kugenda nteeke ebigambo eby’obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna.’+ N’amugamba nti, ‘Ojja kusobola okumulimbalimba era ojja kukituukiriza. Genda okole bw’otyo.’ 23  Kale Yakuwa atadde ebigambo eby’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano bonna,+ naye Yakuwa agambye nti ojja kutuukibwako akabi.”+ 24  Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana n’asembera n’akuba Mikaaya oluyi ku ttama n’amugamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa gwanvaako ddi ne gwogera naawe?”+ 25  Mikaaya n’amuddamu nti: “Lw’onooyingira mu kisenge ekisingayo okuba eky’omunda okwekweka lw’onootegeera ddi lwe gwakuvaako.” 26  Awo kabaka wa Isirayiri n’agamba nti: “Mutwale Mikaaya mumukwase Amoni omukulu w’ekibuga ne Yowaasi mutabani wa kabaka. 27  Mubagambe nti, ‘Kabaka agambye nti: “Omusajja ono mumuteeke mu kkomera+ era mumuwe emmere ntono n’amazzi matono okutuusa nga nkomyewo mirembe.”’” 28  Naye Mikaaya n’agamba nti: “Bw’onookomawo mirembe, nga Yakuwa tayogedde nange.”+ Ate era yagattako nti: “Mukyetegereze mmwe abantu mmwenna.” 29  Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bagenda e Lamosi-gireyaadi.+ 30  Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti: “Nze nja kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala+ n’ayingira olutalo. 31  Kabaka wa Busuuli yali alagidde abakulu b’amagaali ge 32 nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, k’abe wa kitiibwa oba atali wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri yekka.”+ 32  Abakulu b’amagaali olwalaba Yekosafaati ne bagamba nti: “Mazima ddala ono ye kabaka wa Isirayiri.” Awo ne bakyuka okumulwanyisa, naye Yekosafaati n’alaajana. 33  Abakulu b’amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isirayiri, amangu ago ne balekera awo okumuwondera. 34  Naye waaliwo omusajja eyalasa akasaale ke nga takigenderedde, ne kakwasa kabaka wa Isirayiri ebitundu by’ekyambalo kye eky’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omuvuzi w’eggaali lye nti: “Kyuka onzigye mu lutalo* kubanga nfunye ebisago eby’amaanyi.”+ 35  Olutalo ne lunyiinyiitira olunaku olwo lwonna, era kabaka ne bamuyimiriza mu ggaali lye nga bamuwaniridde ng’atunudde eri Abasuuli. Omusaayi ogwali guva mu kiwundu kye ne gukulukutira mu ggaali lye ery’olutalo, era akawungeezi n’afa.+ 36  Awo ng’enjuba egwa, ne kirangirirwa mu lusiisira nti: “Buli muntu addeyo mu kibuga ky’ewaabwe! Buli muntu addeyo mu kitundu ky’ewaabwe!”+ 37  Bw’atyo kabaka n’afa, ne bamutwala e Samaliya; kabaka ne bamuziika mu Samaliya. 38  Ne booleza eggaali lye ery’olutalo okumpi n’ekidiba ky’e Samaliya, embwa ne zikomberera omusaayi gwe era bamalaaya ne banaabira eyo,* nga Yakuwa bwe yali agambye.+ 39  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Akabu, ebyo byonna bye yakola, n’ennyumba* ey’amasanga+ gye yazimba n’ebibuga byonna bye yazimba, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 40  Akabu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,+ Akaziya+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka. 41  Yekosafaati+ mutabani wa Asa yali afuuse kabaka wa Yuda mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Kabaka Akabu owa Isirayiri. 42  Yekosafaati yalina emyaka 35 we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 25 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Azuba, muwala wa Siruki. 43  Yatambulira mu kkubo lyonna erya Asa+ kitaawe. Teyalivaamu, era yakolanga ebintu ebirungi mu maaso ga Yakuwa.+ Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka era nga bakyanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebyo.+ 44  Yekosafaati yalina enkolagana ennungi ne kabaka wa Isirayiri.+ 45  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekosafaati, ebikolwa bye eby’obuzira, n’entalo ze yalwana, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 46  Yekosafaati yamalirawo ddala mu nsi bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu+ abaali basigaddewo mu biseera bya kitaawe Asa.+ 47  Tewaaliwo kabaka mu Edomu;+ omusigire ye yali afuga nga kabaka.+ 48  Ate era Yekosafaati yakola ebyombo by’e Talusiisi* okugendanga mu Ofiri okukimayo zzaabu,+ naye tebyagenda olw’okuba byamenyekeramenyekera mu Eziyoni-geberi.+ 49  Mu kiseera ekyo, Akaziya mutabani wa Akabu yagamba Yekosafaati nti: “Abaweereza bange ka bagendere wamu n’abaweereza bo mu byombo,” naye Yekosafaati n’agaana. 50  Yekosafaati n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe+ era n’aziikibwa ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekolaamu+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka. 51  Akaziya+ mutabani wa Akabu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, era Isirayiri yagifugira emyaka ebiri. 52  Yakolanga ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era yatambulira mu kkubo lya kitaawe+ ne nnyina,+ era ne mu kkubo lya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, eyaleetera Isirayiri okwonoona.+ 53  Yeeyongera okuweereza Bbaali+ n’okumuvunnamira, era yanyiizanga Yakuwa Katonda wa Isirayiri,+ nga kitaawe bwe yakola.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okusindisa.”
Obut., “omwoyo.”
Obut., “lusiisira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “embwa zaakomberera omusaayi gwe bamalaaya we baanaabiranga.”
Oba, “n’olubiri.”
Laba Awanny.