Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

1 Bassekabaka 20:1-43

EBIRIMU

  • Abasuuli balwana ne Akabu (1-12)

  • Akabu awangula Abasuuli (13-34)

  • Obunnabbi obukwata ku Akabu (35-43)

20  Awo Kabaka Beni-kadadi+ owa Busuuli+ n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna ne bakabaka 32 n’embalaasi zaabwe n’amagaali gaabwe, n’ayambuka n’azingiza+ Samaliya+ n’akirwanyisa.  N’atumira Kabaka Akabu+ owa Isirayiri ababaka mu kibuga okumugamba nti: “Bw’ati Beni-kadadi bw’agamba nti,  ‘Ffeeza wo ne zzaabu wo byange, era bakazi bo n’abaana bo abasinga okulabika obulungi bange.’”  Awo kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti: “Mukama wange kabaka, nze ndi wuwo ne byonna bye nnina bibyo, nga bw’ogambye.”+  Oluvannyuma ababaka ne bakomawo ne bagamba nti: “Bw’ati Beni-kadadi bw’agamba, ‘Nnakuweereza obubaka obugamba nti: “Ojja kumpa ffeeza wo ne zzaabu wo ne bakazi bo n’abaana bo.”  Naye enkya mu kiseera nga kino, nja kukutumira abaweereza bange baaze ennyumba yo n’ennyumba z’abaweereza bo, era ebintu byo byonna eby’omuwendo bajja kubitwala.’”  Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’omu nsi eyo n’abagamba nti: “Mulabe era mutegeere nti omusajja ono amaliridde okutukolako akabi, kubanga yandagira mmuwe bakazi bange n’abaana bange ne ffeeza wange ne zzaabu wange, era saagaana.”  Awo abakadde bonna n’abantu bonna ne bamugamba nti: “Tomugondera, era tokola ekyo ky’agambye.”  N’agamba ababaka ba Beni-kadadi nti: “Mugambe mukama wange kabaka nti, ‘Byonna bye wasooka okulagira omuweereza wo okukuwa, nja kubikuwa; naye kino sisobola kukikola.’” Awo ababaka ne baddayo ne babuulira Beni-kadadi. 10  Beni-kadadi n’amutumira ababaka n’amugamba nti: “Bakatonda bambonereze nnyo era bongere ku kibonerezo kyange, enfuufu y’e Samaliya bw’eneemala abantu bonna abangoberera buli omu n’afunako olubatu!” 11  Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu nti: “Mumugambe nti, ‘Ng’olutalo terunnaba kutandika teweewaana ng’amaze okuluwangula.’”+ 12  Olwawulira ebigambo ebyo nga ye ne bakabaka abalala bali mu weema* zaabwe banywa omwenge, n’agamba abaweereza be nti: “Mweteeketeeke okulumba!” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga. 13  Awo ne wabaawo nnabbi eyatuukirira Akabu+ kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Olabye ekibiina ky’abantu ekyo kyonna ekinene? Ŋŋenda kukiwaayo mu mukono gwo olwa leero, olyoke omanye nga nze Yakuwa.’”+ 14  Akabu n’amubuuza nti: “Ani gw’anaakozesa?” N’amuddamu nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nja kukozesa abaweereza b’abaami b’amasaza.’” Era n’abuuza nti: “Ani anaatandika olutalo?” N’amuddamu nti: “Ggwe!” 15  Awo Akabu n’abala abaweereza b’abaami b’amasaza, era baali 232; oluvannyuma n’abala abasajja bonna Abayisirayiri, era baali 7,000. 16  Awo ne bafuluma mu kibuga mu ttuntu nga Beni-kadadi ali mu weema* yeekatankira omwenge ne bakabaka 32 abaali bamuyamba. 17  Abaweereza b’abaami b’amasaza bwe baafuluma mu kibuga, Beni-kadadi n’atuma ababaka bagende balabe ekyali kigenda mu maaso. Ne bamutegeeza nti: “Waliwo abasajja abavudde e Samaliya.” 18  Awo n’agamba nti: “Bwe baba bazze lwa mirembe, mubakwate mubaleete nga balamu; ne bwe baba nga bazze kulwana, mubakwate mubaleete nga balamu.” 19  Naye bano bwe baafuluma ekibuga—abaweereza b’abaami b’amasaza n’amagye agaali gabagoberera— 20  buli omu n’atta eyali amulwanyisa. Abasuuli ne badduka,+ Abayisirayiri ne babawondera, naye Kabaka Beni-kadadi owa Busuuli ne yeebagala embalaasi n’adduka n’agenda n’abamu ku beebagazi b’embalaasi. 21  Naye Kabaka wa Isirayiri n’afuluma mu kibuga n’alwanyisa abalabe abaali ku mbalaasi ne ku magaali n’abawangula, bw’atyo n’awangulira ddala Abasuuli.* 22  Oluvannyuma nnabbi+ yatuukirira kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti: “Genda weenyweze, olowooze ku ky’ogenda okukola,+ kubanga ku ntandikwa y’omwaka ogujja kabaka wa Busuuli ajja kukulumba.”+ 23  Abaweereza ba kabaka wa Busuuli ne bamugamba nti: “Katonda waabwe Katonda wa nsozi, kyebavudde batuwangula. Naye bwe tunaabalwanyisiza mu kitundu eky’omuseetwe, tujja kubawangula. 24  Era kino ky’oba okola: Ggya bakabaka bonna+ mu bifo byabwe ozzeemu bagavana. 25  Era kuŋŋaanya* eggye eryenkanankana n’eryo lye wafiirwa, ozzeewo omuwendo gw’embalaasi n’ogw’amagaali bye wafiirwa, tubalwanyisize mu kitundu eky’omuseetwe, tujja kubawangula.” Beni-kadadi n’abawuliriza n’akola bw’atyo. 26  Ku ntandikwa y’omwaka, Beni-kadadi yakuŋŋaanya Abasuuli n’ayambuka e Afeki+ okulwanyisa Abayisirayiri. 27  Abayisirayiri nabo baakuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa ebintu ebyetaagisa ne bagenda okulwanyisa Abasuuli. Abayisirayiri bwe baasiisira mu maaso gaabwe, baali ng’obusibo bw’embuzi bubiri, naye ng’Abasuuli babunye ekitundu kyonna.+ 28  Awo omusajja wa Katonda ow’amazima n’ajja eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Olw’okuba Abasuuli bagambye nti: “Yakuwa Katonda wa nsozi, so si wa nsenyi,” ekibiina ky’abantu ekyo kyonna ekinene ŋŋenda kukiwaayo mu mukono gwo,+ mulyoke mumanye nga nze Yakuwa.’”+ 29  Abayisirayiri n’Abasuuli ne basiisira nga batunuuliganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne batandika okulwana. Mu lunaku lumu abantu ba Isirayiri batta abasirikale Abasuuli 100,000 abaali batambuza ebigere. 30  Abalala baddukira mu kibuga Afeki,+ naye ekisenge ne kigwira abasajja 27,000 abaali basigaddewo. Beni-kadadi naye yadduka n’atuuka mu kibuga n’ayingira mu kisenge ekisingayo okuba eky’omunda. 31  Abaweereza be ne bamugamba nti: “Laba! tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri basaasizi.* Tukwegayiridde, tukkirize twambale ebibukutu, twesibe emiguwa ku mitwe, tugende eri kabaka wa Isirayiri. Oboolyawo anaakuleka n’osigala ng’oli mulamu.”+ 32  Awo ne bambala ebibukutu, ne beesiba emiguwa ku mitwe, ne bagenda eri kabaka wa Isirayiri ne bamugamba nti: “Omuweereza wo Beni-kadadi agambye nti, ‘Nkwegayiridde, ndeka nsigale nga ndi mulamu.’” Awo n’agamba nti: “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.” 33  Abasajja abo ne bakitwala ng’akabonero akalungi, ne bakkiririzaawo kye yagamba, bwe batyo ne bagamba nti: “Beni-kadadi muganda wo.” Awo n’agamba nti: “Mugende mumuleete.” Beni-kadadi n’ajja gye yali, era amangu ago n’amulinnyisa mu ggaali. 34  Beni-kadadi n’amugamba nti: “Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo nja kubikuddiza, era osobola okweteerawo obutale* mu Ddamasiko nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’amugamba nti, “Okusinziira ku ndagaano eno, nja kukuleka ogende.” Awo n’akola naye endagaano, n’amuleka n’agenda. 35  Awo Yakuwa n’alagira omu ku baana ba bannabbi*+ agambe munne nti: “Nkwegayiridde, nkuba.” Kyokka munne n’agaana okumukuba. 36  N’amugamba nti: “Olw’okuba towulirizza ddoboozi lya Yakuwa, bw’onooba waakava we ndi empologoma ejja kukutta.” Bwe yava we yali, empologoma n’emusanga n’emutta. 37  Awo nnabbi oyo n’asanga omusajja omulala n’amugamba nti: “Nkwegayiridde nkuba.” Omusajja n’amukuba n’amutuusaako ebisago. 38  Awo nnabbi n’agenda n’alindirira kabaka ku kkubo, nga yeesibye ekigoye ku maaso baleme kumutegeera. 39  Kabaka bwe yali ayitawo, nnabbi n’amuyita n’amugamba nti: “Omuweereza wo bwe yagenda olutalo we lwali lunyiinyiitidde, waliwo omusajja eyavaayo n’andeetera omusajja n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaakubulako, obulamu bwo bwe bujja okusasula obubwe,+ oba ojja kusasula ttalanta* emu eya ffeeza.’ 40  Omuweereza wo bwe yali ng’aliko by’akola wano na wali, omusajja oyo n’abula.” Awo kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti: “Ggwe kennyini ggwe weesalidde omusango, era ekyo kye kigenda okukutuukako.” 41  Amangu ago n’aggya ekigoye ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nti y’omu ku bannabbi.+ 42  Nnabbi n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti, ‘Olw’okuba olese omusajja abadde alina okuttibwa n’akutolokako,+ obulamu bwo bwe bujja okusasula obubwe,+ n’abantu bo be bajja okudda mu kifo ky’abantu be.’”+ 43  Awo kabaka wa Isirayiri n’addayo ewuwe e Samaliya+ ng’anyiize era nga munakuwavu.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ensiisira.”
Oba, “nsiisira.”
Oba, “n’atta Abasuuli bangi.”
Obut., “bala.”
Oba, “bakabaka abalina okwagala okutajjulukuka.”
Oba, “ojja kwetwalira enguudo.”
Kirabika “abaana ba bannabbi” kitegeeza essomero lya bannabbi oba ekibiina kya bannabbi.
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.