LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Abebbulaniya 10:24, 25)

  1. 1. Twetooloddwa abantu abajeemu;

    Yakuwa tebamumanyi.

    Okwekuumira mu kkubo ettuufu,

    Twetaaga ’bulagirizi.

    Enkuŋŋaana zaffe zituganyula;

    Zinyweza okukkiriza;

    Zitukubiriza ’kkola ’birungi;

    Zituzzaamu nnyo amaanyi.

    Tunyweredde ku Yakuwa ky’agamba;

    By’ayagala tubyagala.

    Tuyiga bingi mu nkuŋŋaana zaffe

    Ebituzzaamu amaanyi.

  2. 2. Yakuwa amanyi ffe bye twetaaga;

    Tuwulire ky’atugamba.

    Tulaga nti twagal’e Kigambo kye

    Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana.

    Tuyigirizibwa bulungi ddala

    Ne tumany’e ky’okukola.

    Bwe tuba awamu n’ab’oluganda,

    Tuba basanyufu ddala.

    Nga bwe tulindirira ensi empya,

    Ka tukuŋŋaanenga nabo.

    Tuyige ’ngeri y’okutambuzaamu

    ’Bulamu bwaffe bulijjo.