LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Matayo 16:24)

 1. 1. Eri Kristo, Yakuwa atuleese ffe

  Tufuuse bayigirizwa be.

  Ekitangaala kyaka,

  Kiva eri Yakuwa.

  ’Bulamu bwaffe bwonna

  Tubukkwasa Yakuwa.

  (CHORUS)

  Twewaayo eri Katonda; Twasalawo.

  Tumutendereza ye ne Kristo.

 2. 2. Tutegeezezza Yakuwa mu kusaba

  Nti twewaayo ’kumuweereza.

  Nga kya ssanyu nnyo ddala

  Ffe okumanyisanga

  Erinnya lya Yakuwa

  Era n’Obwakabaka.

  (CHORUS)

  Twewaayo eri Katonda; Twasalawo.

  Tumutendereza ye ne Kristo.