Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 OLUYIMBA 45

Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange

Londa eky'Okuwuliriza
Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange
LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Zabbuli 19:14)

  1. 1. Ebyo bye nfumiitiriza,

    Byonna nze bye ndowoozaako,

    Bisanyus’o mutima gwo

    Onkuumire mu kkubo lyo.

    Bwe mba nneeraliikiridde

    Er’o tulo ne tumbula,

    Ka nkulowoozengako ggwe

    Ne bye mmanyi nti bisaana.

  2. 2. Ebintu ebirongoofu,

    Ebintu eby’amazima,

    N’ebyogerwako ’bulungi

    Ka bimbeere ku mutima.

    ’Birowoozo byo Yakuwa

    Bingi era bya muwendo;

    Ka mbifumiitirizeeko

    Era ka mbyemalireko.