LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(1 Peetero 5:10)

 1. 1. Katonda ye yaleeta ’mazima gy’oli

  Era n’akuggyayo mu nzikiza.

  Yalaba mu mutima gwo ng’oyagala

  Okukola ebyo by’ayagala.

  Wamusuubiza nty’o libikola;

  Yakuyamba era ’kyakuyamba.

  (CHORUS)

  Wagulwa na musaayi

  gw’omuwendo ’mungi.

  Ajja kukunyweza

  obeere wa maanyi.

  Ajja kukuluŋŋamya

  era ’jja kukuuma.

  Ajja kukunyweza

  obeere wa maanyi.

 2. 2. Katonda yawaayo ’Mwana we ku lulwo;

  Akwagaliza birungi byokka.

  Bw’aba teyalemwa kuwaayo ’Mwana we,

  Ajja kkuwa ’maanyi ge weetaaga.

  Teyeerabiranga kwagala kwo.

  Alabirira ’babe bulijjo.

  (CHORUS)

  Wagulwa na musaayi

  gw’omuwendo ’mungi.

  Ajja kukunyweza

  obeere wa maanyi.

  Ajja kukuluŋŋamya

  era ’jja kukuuma.

  Ajja kukunyweza

  obeere wa maanyi.