Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 OLUYIMBA 37

Okuweereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna

Londa eky'Okuwuliriza
Okuweereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Matayo 22:37)

 1. 1. Nze nkwagala nnyo Yakuwa

  ’Mufuzi w’obutonde bwonna.

  Ŋŋwanidde okukusinza.

  Obwesigwa nja kubukuuma.

  Amateeka go ngagondera;

  Nja kukola by’oyagala.

  (CHORUS)

  Ai Yakuwa ŋŋwanidde

  Okukwemalirako ddala.

 2. 2. Buli kimu kye wakola

  Kikuweesa ggwe ekitiibwa.

  Mpaayo obulamu bwange

  Bwonna n’amaanyi gange gonna.

  Nneewaayo okukuweereza

  Era nja kkituukiriza.

  (CHORUS)

  Ai Yakuwa ŋŋwanidde

  Okukwemalirako ddala.