Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Muyimbire Yakuwa n’Essanyu

 OLUYIMBA 145

Ekisuubizo ky’Olusuku lwa Katonda

Londa eky'Okuwuliriza
Ekisuubizo ky’Olusuku lwa Katonda
LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Lukka 23:43)

  1. 1. Katonda ye yasuubiza nti

    Walibaawo ’lusuku lwe,

    Bw’aliggyawo ebibi byonna,

    Okukaaba ko n’okufa.

    (CHORUS)

    Ensi yonna eribeera

    Olusuku lwa Katonda

    Yesu Kristo bw’alikola

    Nga Katonda bw’ayagala.

  2. 2. Omwana we anaazuukiza

    ’Bafu ku nsi eno mangu.

    Bw’atyo Yesu yasuubiza nti:

    ‘Olibeera mu Lusuku.’

    (CHORUS)

    Ensi yonna eribeera

    Olusuku lwa Katonda

    Yesu Kristo bw’alikola

    Nga Katonda bw’ayagala.

  3. 3. Yesu naye yalusuubiza

    Era kati ye Kabaka.

    Twebaza nnyo Katonda waffe,

    N’omutima gwaffe gwonna.

    (CHORUS)

    Ensi yonna eribeera

    Olusuku lwa Katonda

    Yesu Kristo bw’alikola

    Nga Katonda bw’ayagala.