Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 OLUYIMBA 144

Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!

Londa eky'Okuwuliriza
Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(2 Abakkolinso 4:18)

  1. 1. Bamuzibe bajja kulaba;

    Bakiggala baliwulira,

    Era n’abaana baliyimba,

    Ng’essanyu libunye wonna.

    Abafu balizuukizibwa,

    Babeere ku nsi ’lubeerera,

    (CHORUS)

    Byonn’e byo ojja kubiraba.

    Kuumira ’maaso ku mpeera.

  2. 2. Ate ’misege n’obuliga,

    Biriba biriiranga wamu,

    Era omwana ’libiyita,

    Nabyo birimugondera.

    Ng’amaziga tegakyaliwo,

    N’obulumi nga buweddewo,

    (CHORUS)

    Byonn’e byo ojja kubiraba.

    Kuumira ’maaso ku mpeera.