LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Zabbuli 2:12)

  1. 1. Ekibiina ’kinene kiva

    mu mawanga gonna;

    Yesu Kristo n’abalonde

    be bakikuŋŋaanyizza.

    ’Bwakabaka bwa Katonda

    Buzaaliddwa era bujja.

    Essuubi lino litugumya;

    Mazima lya muwendo nnyo.

    (CHORUS)

    Tendanga Yakuwa, Tenda n’Omwana we

    Gw’alonze nga Kabaka waffe.

    Ka tube bawulize bulijjo

    Wansi w’obufuzi bwe.

  2. 2. Kabaka waffe, Yesu Kristo,

    tumutendereza.

    Agenda kutuukiriza

    Katonda by’ayagala.

    Essanyu lingi gye bujja:

    Ensi teribaamu kutya;

    Abafu balizuukizibwa.

    ’Ssanyu lijjule ’nsi yonna!

    (CHORUS)

    Tendanga Yakuwa, Tenda n’Omwana we

    Gw’alonze nga Kabaka waffe.

    Ka tube bawulize bulijjo

    Wansi w’obufuzi bwe.