Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 OLUYIMBA 113

Emirembe Gye Tulina

Londa eky'Okuwuliriza
Emirembe Gye Tulina
LABA
Bigambo Byokka
Ekifaananyi

(Yokaana 14:27)

  1. 1. Yakuwa wa mirembe;

    Mutendereze.

    Aliggyawo entalo,

    ’Nsi etereere.

    ’Mwana we wa mirembe

    Era wa kisa.

    ’Mirembe ’gitaggwaawo

    Tuligifuna.

  2. 2. ’Bigambo ebivuma

    Twabireka dda.

    ’Bitala n’amafumu

    Ffe tubyesamba.

    Tukuume emirembe

    Nga tusonyiwa.

    Tufubenga bulijjo

    ’Kukoppa Kristo.

  3. 3. ’Mirembe gyaffe giva

    Eri Katonda.

    ’Mateeka ge malungi

    Tugagondere.

    Tubeere ba mirembe

    Mu bantu bonna.

    ’Kiseera kinaatuuka

    Gibune wonna.