EBIBUUZO ABANTU BYE BATERA OKWEBUUZA

Abajulirwa ba Yakuwa Bagoberezi ba Kristo?

Luganda
Abajulirwa ba Yakuwa Bagoberezi ba Kristo?
https://cms-imgp.jw-cdn.org/img/p/502012470/univ/art/502012470_univ_sqr_xl.jpg
ijwfq ekitundu 2

Abajulirwa ba Yakuwa Bagoberezi ba Kristo?

Abajulirwa ba Yakuwa Bagoberezi ba Kristo?

 Yee. Tuli bagoberezi ba Kristo olw’ensonga zino wammanga:

  •   Tufuba okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza n’okukoppa engeri gye yeeyisaamu.—1 Peetero 2:21.

  •   Tukkiriza nti Yesu y’asobozesa abantu okufuna obulokozi era nti ‘tewali linnya ddala wansi w’eggulu eriweereddwa mwe tuyinza okufunira obulokozi.’—Ebikolwa 4:12.

  •   Abantu okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa, babatizibwa mu linnya lya Yesu.—Matayo 28:18, 19.

  •   Essaala zaffe tuziyisa mu linnya lya Yesu.—Yokaana 15:16.

  •   Tukikkiriza nti Yesu gwe mutwe gwa buli muntu.—1 Abakkolinso 11:3.

 Wadde kiri kityo, twawukana ku madiini amalala agagamba nti gakkiririza mu Kristo. Ng’ekyokulabirako, tukkiriza ekyo Bayibuli ky’eyigiriza nti Yesu si Katonda, wabula Mwana wa Katonda. (Makko 12:29) Tukikkiriza nti omuntu bw’afa tewali kimuvaamu ne kisigala nga kiramu, era tewali kyawandiikibwa kiraga nti Katonda abonyaabonya abantu mu muliro ogutazikira, era Ebyawandiikibwa tebiraga nti abakulemberamu abalala mu kusinza basaanidde okuweebwa ebitiibwa eby’enjawulo ebiraga nti ba waggulu ku balala.—Omubuulizi 9:5; Ezeekyeri 18:4; Matayo 23:8-10.